TOP

Saagala mwana wange kwambala biswaza - Irene Namatovu

By Musasi wa Bukedde

Added 9th May 2018

Empisa z’omwana kye kimu ku bintu ebiraga gy'azalibwa bwe wafaanana.

Irene11 703x422

Irene Namatovu ne muwala we

Abazadde abamanyi eky’okukola, guno omulimu bagukwasiszza maanyi okulaba ng’abaana baabwe bavaamu ekyo bbo kye babagaliza.

Irene Namatovu alaze engeri gy’ateekateeka omwana we okulaba ng’akula n’obuvunaanyizibwa:

Ng’omuzadde ebintu bingi byenjagala okuyigiriza abaana bange gamba ng’okubeera abayiiya, abafaayo, abagezi, abeesigwa n’ebirala.

Mu bino byonna  seerabirala nti ekisinga obukulu kwe kuyigiriza omwana wange okubeera n’obuvunaanyizibwa.

Okubeera n’obuvunanyizibwa kitandikira ku kumanya engeri y’okwerabirira wamu n’ebintu ebirala. Kino osobola okukiyigiriza omwana okuviira ddala nga muto. Kino nkituukiriza nga nkola bino wammanga;

  • Essira eddala nditeeka ku nnyambala y’omwana ono kubanga kino nkimanyi nti kyogera kinene ku kiki omuntu yenna ky’abeera.
  • Okukolera awamu n’omwana wange, kino kimulaga eky’okukola era mu kiseera ky’oluwummula, emirimu egisinga ngikola ne muwala wange kye nkakasa kijja kuwagala n'okwogiwaza ebiseera bye eby’omu maaso ne bwendiba nga nvudde mu nsi muno.
  • Kuno ngattako okumuyigiriza eddiini kuba omuntu alina eddiini ku mutima abeera n’empisa ate nga kino kitambulira wamu n’obuvunaanyizibwa.
  • Omwana wange bw'akola omulimu gwonna mu ngeri ensanyusa, muzzaamu amaanyi era ne musiima, bw'atyo n'afuna amaanyi agakolayo n’ekirala mu kwagala okunsanyusa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi

Kuba 220x290

Minisitule efulumizza entegeka...

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni azzizzaamu abazadde, abayizi n’abasomesa essuubi nti singa...

Kip1 220x290

Geo Steady ne mukazi we, Prima...

Geo Steady ne mukazi we, Prima omulamwa gwa Corona bagutegeera

Lab1 220x290

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa...

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa mu kiseera kya Kalantiini

Shutterstockeditorial10434333bm 220x290

Coronavirus: Amerika kiri bubi,...

Corona ayongedde okwewanisa abantu emitima okwetooloola ensi yonna era Pulezidenti wa Amerika Donald Trump yalabudde...