TOP

Ekivvulu kya Flavia Namulindwa kyengedde

By Musasi wa Bukedde

Added 10th May 2018

EKIVVULU kya Flavia Namulindwa kye yatuumye Cultural experience kyengedde.

Bata 703x422

Ekivvulu kino ekitegekeddwa ku Serena hotel ku Ssande nga May 13, 2018, kigenda kulagibwamu amazina g’ebyobuwangwa obw’enjawulo mu Uganda omuli amazina Amaganda, Olunyege, Ntogoro kw’anaagatta ag’obukiika kkono, ag’obuvanjuba n’aga buli kika kwe kugamba buli omu waakunyumirwa mu ngeri ye.

Bwe yabadde mu kutendekebwa ewa munnakatemba, John Ssegawa (ayimiridde ne Flavia ku ddyo) e Lubaga gye bamaze omwezi n’okusoba nga bazina n’okuyimba buli lunaku, Flavia nga yaaweereza pulogulaamu, Oluyimba lwo ku Bukedde Ttivvi ku ssaawa 7:00 ez’emisana ne Full Doz buli Lwakutaano ku ssawa 5:00 ez’ekiro, yategeezezza nti agenda kukola ebyafaayo kubanga tewabangawo yali ategese kivvulu kya byabuwangwa.

Olunaku olwo lwa bamaama era asabye abantu bagende ne bamaama baabwe, abatabalina bagende ne bataata oba mikwano gyabwe.

Okuyingira 50,000/-, 100,000/- ate abaagala emmeeza eriko n’ebyokunywa baakusasula 1,000,000/-.

Abagenda okuzina amazina be b’ekibiina kya Dance and Beats ekya Namulindwa nga kirimu abazina amazina ag’enjawulo naddala ag’ekinnansi.

Ayagala okugula tikiti osobola okuyita ku nnamba y’essimu eno, 0754054183.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam

Dot1 220x290

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda...

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda