TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Walukagga ne Mariach kirabika tebaabakubira kusabiriza...!

Walukagga ne Mariach kirabika tebaabakubira kusabiriza...!

By Musasi wa Bukedde

Added 15th May 2018

ABAYIMBI ne bakazanyirizi batadde abagagga ku nninga nga babasabiriza ssente era abamu obwedda baziggyayo lwa nnaakola ntya.

Basu 703x422

Obwedda engeri gye balemera ku bagagga ng’eraga nti ensonyi baazinaaba ku maaso ate abamu ne bagamba nti kirabika bano tebaabakubira kusabiriza era balinga abaabadde ku kivvulu kya ‘bakazannyirizi n’abayimbi ani asinga?’.

Abayimbi bano okwabadde Mathias Walukagga, MC Mariach, Muzeeyi Kamadi ne MC Dragon baabadde ku mukolo gw’omugagga Lwasa ng’abatiza n’okwebaza Katonda olw’ezzadde lyamuwadde.

Yabadde ne bagagga banne ab’e Masaka n’abaavudde e Kampala. Lwasa yabatizza abaana batano okuli: Isabel Namanda, Edson Kakooza, Reagan Wasswa, Hilton Nakatto ne Samuel Kigaanira era olwavudde ku Klezia baasibidde mu maka ge e Kyabakuza gye yagabulidde abantu.

Walukagga ye yasoosewo n’akuba ‘Twasomoka Lwera’ olwo n’atandika okubayitamu nga bw’abasolooza ng’atamuwa ssente tavaawo.

Ye Muzeeyi Kamadi yazze n’olukalala lw’abagagga n’alukwasa MC Dragon era obwedda gw’asoma erinnya ng’amulumba.

Ye Mariachi yagambye nti alina ebizibu bingi n’asaba Lwasa ne bagagga banne beekolemu omulimu bamwongere ku ssente ate bamufuuwe mu ddoola omugagga Mark kye yakoze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga