TOP

Buchaman kyaddaaki azuukidde!

By Musasi wa Bukedde

Added 16th May 2018

OMUYIMBI Buchaman yakuba ennyimba nga ‘‘Abakyala lwaki temummattira, Kyagula Ssada, Bannakampala’’ n’endala.

Wolo 703x422

Bwe yava ewa Bobi n’agenda ewa Sipapa eyamukwata ku mukono kyokka nayo teyalwayo n’addukayo.

W’osomera bino nga Buchaman azzeemu okwaka abamu kye baayise okuzuukira.

Yeegasse ne murasita munne Disan Mubiru eyeeyita Disan Future n’Omuzungu Darlington Regna enzaalwa y’e Norway ayimbira mu Helem Band ne bakuba oluyimba olulabula abantu okukomya okuvuluga abarasita nga babayita abamenyi b’amateeka.

Balutuumye ‘‘Tonjooga’’. Buchaman eyeewanye obutaggwaamu yategeezezza nti okukuba oluyimba luno bagezaako okukyusa endowooza z’abantu ze balina ku Barasita era lunnyonnyola Rasita omutuufu y’ani n’emirandira gy’aba Ghetto kubanga abantu abasinga babalabanga abayaaye n’abazzi b’emisango olw’okusiba enviiri, okunywa enjaga n’okukola effujjo.

Wabula bagamba nti si buli muntu asiba enviiri nti murasita wabula oyo agoberera amateeka gaabwe ng’obutalya nnyama, obutayiwa musaayi n’obutalya bintu ebivaamu omusaayi era alina okukkiririza mu Katonda waabwe ayitibwa JAH RASTER FARI SELLASILE.

Yakubirizza abantu okukomya okubasosola n’okumuwagira addemu okufuna ku ssanyu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobiwineatmagere 220x290

Bobi Wine ayogedde ku ngeri gye...

" Akawungeezi ka Mmande nnabadde mu kisenge kya wooteeri mwensula ne mpulira abantu nga bagamba ggulawo kyokka...

Long1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Bobi Wine, mukazi we amutunuddeko e Makindye gy’akuumirwa n’azirika olw’embeera gy’alimu. Omubaka Zaake bamuleese...

Candia 220x290

Nnannyini wooteeri ya Pacific e...

NANNYINI wooteeri ya Pacific Hotel mu kibuga Arua asambazze ebyayogeddwa poliisi nti emmundu ez’ekika kya SMG ebbiri...

Genda1 220x290

Baka balamu bange bannemesezza...

NZE Shifrah Nalwadda 25. Mu 2016 omusajja ayitibwa Akim yankwana era nange ne musiima ne mmukkiriza n’antwala ewuwe...

K3 220x290

Ab'e Kamwokya bazzeemu okwekalakaasa:...

Ab'e Kamwokya bazzeemu okwekalakaasa: Baagala Bobi Wine ayimbulwe