TOP

Bryan White agenda kuzimba ddwaaliro

By Musasi wa Bukedde

Added 17th May 2018

Bryan White agenda kuzimba ddwaaliro

Jub2 703x422

OLUVANNYUMA lw’enkyukakyuka ze yakoze mu kibiina kye mwe yagobedde n’abayimbi ku ‘podium’ ng’abalanga butakyusa mu mpisa zaabwe ekyonoonye ekibiina, Omugagga Bryan White agamba nti kati agenda kwemalira ku nteekateeka ze ez’okukulaakulanya eggwanga n’okutandikirawo abavubuka emirimu.

Mu byalaze mulimu okuzimba eddwaaliro ery’omulembe e Sseguku okumpi ne Roofi ng’s ku ttaka lye yaakagula ne ofi isi z’ekibiina kye ku Musajja Alumbwa mu Kisenyi w’agenda okusinziira okuyamba abantu.

Eddwaaliro lino ng’oggyeko okuwa abantu obujjanjabi, ligenda kuwa abavubuka emirimu. Bryan White amaze ebbanga ng’akolagana n’abayimbi mu kibiina kye ekya Bryan White Foundation okuli; Jose Chameleone, King Michael, Weasel, Pallaso, Big Eye, Tinatine, Morgana (muyimbi wa nnyimba za ddiini), bakazannyirizi Madrat ne Cheko, Mendo eyakazibwako erya Museveni, Muhangi n’abalala era ng’abadde abasasula nga bakozi mu kibiina kye.

Wadde bano bonna yabayimirizza, mu nteekateeka empya gyakoze abawadde omukisa okuddamu okukola wabula n’abalagira okuwandiika ebbaluwa mu butongole nga basaba omulimu ate nga bagondera amateeka ng’abakozi abalala.

Ensonda mu kibiina zaategeezezza nti Bryan White okutabukira abayimbi kyavudde ku mpisa zaabwe ezibalemye okukyusa okukozesa ebiragalalagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Besigye1 220x290

Poliisi e Jinja ezzeemu okulemesa...

POLIISI e Jinja ezzeemu okukwata eyaliko pulezidenti w’ekibiina kya FD, Dr. Kizza Besigye n’emuggalira ku poliisi...

Abapangisa aba boda ne babatta...

Omu bamutuze omulambo ne bagwokya mu maaso

Twa1 220x290

Bannayuganda abalina obusobozi...

Bannayuganda abalina obusobozi okufuna amazzi amayonjo beeyongede okusinziira ku alipoota ya TWAWEZA

Namayanja 220x290

Obulwadde bw’abaana butiisizza...

Bantegeeza ng’obulwadde bwe batabulaba kyokka ne bampa amagezi mmutwale mu ddwaaliro e Kiruddu.

Ssengalogo 220x290

Amaanyi gange gaakendeera

Bwe mala okwegatta ndwawo okuddamu okuyunga.