TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Aba Swengere famire bawera kussa bantu nseko ku Theatre La Bonita

Aba Swengere famire bawera kussa bantu nseko ku Theatre La Bonita

By Musasi wa Bukedde

Added 25th May 2018

IBANDA Muyonjo amanyiddwa nga Swengere ne bannakatemba banne aba Swengere Famire ababeera ku Bukedde TV1 bakomyewo mu kibuga wakati n’ekivvulu kye batuumye Swengere Day Out mwe bagenda okulagira obuzannyo bwabwe obukadde n’obupya.

Swengere 703x422

Ibanda Muyonjo (ku kkono), Maama Kalibbala ne Kalibbala (mutabani waabwe).

Bagenda kuzannya ng’eno bwe babakubira omuziki okukasa abantu nti ebitone babirina.

Swengere yategeezezza nti ebbinu lino balitadde ku Theatre La Bonita leero ku Lwokutaano, enkya ku Lwomukaaga nga May 26, 2018 ne Ssande nga May 27, 2018.

Obuzannyo bwabwe obusinga bubeera mu Lusoga nga bukwata ku bintu eby’enjawulo naddala ebikwata ku bulamu bw’abantu obwa bulijjo ng’eno bwe babakubira omuziki.

Bawerekeddwaako abayimbi okuli: Mr. World, Frida n’abalala bangi okuva e Busoga abagamba nti kye kiseera okuwagira Swengere Family olw’omulimu gwe bakoze okutunda Busoga.

Muyonjo azannya nga taata, Maama Kalibbala (mukyalawe), Kalibbala (mutabani waabwe), Kasolo (mukwano gwabwe) n’abalala.

Okuyingira 250,000/- ne 30,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga