TOP

Mukama bw’agamba tewali ayinza kukulemesa - Mesach

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd June 2018

KATONDA bw’agamba nti onooba ..teri agamba nti toobe, bw’agamba nti onoogaggawala teri agamba nti toogaggawale, bwagamba nti onoozaala teri agamba nti toozaale, bw’agamba nti onootuuka teri agamba nti tootuuke.

Sema703422 703x422

Mesach Ssemakula

Obubaka buno obuwa essuubi buli mu luyimba lwa Golden Papa Mesach Ssemakula owa Golden Productions olupya.

Oluyimba luno Mesach mwalagira gyenvudde we alutuumye ‘Bw’agamba’ ng’agamba nti Katonda bwasalawo tewali ayinza kukulemesa.

Alaga n’ebintu ebimufudde omuwanguzi mu nsiike y’okukuba omuziki n’okulemera ku ntikko n’akikuba mwaka ku mwaka.

Kyokka agamba nti bino tebivudde ku mukeeka azze atoba n’ensi, okubeera omumalirivu, okwekkiririzaamu, okwekwasa Mukama Katonda, okwewa ekitiibwa, okumanya ky’ayagala kyokka ng’ekisinga byonna kwe kukola ennyo.

Mesach Ssemakula eyasooka okukuba ennyimba nga: Kulika Baby, Njagala Nnyimbire Omutanda, Mummy Nzize, Kankutendereze, Abakazi abaguma, Ssi gwe onsiimira, Tukwegomba bangi, Ntongo, Benitah, Kyalimpa n’endala nnyingi agamba nti ekibuga yakiyingira wa myaka 16 n’atandika okuyiiya obulamu n’okunoonya omukisa gwe kitaawe n’atuuka n’okumugoba awaka nga bamuyita muyaaye, n’atambuza ebigere, okusula enjala, enkuba n’emukuba kyokka Katonda yaliwo mu kkubo lye kubanga akimanyi nti Mukama Katonda asinga sitaani amaanyi.

Oluyimba luno olukutte Bannayuganda omubabiro olw’obubaka obululimu, alukuba ne ku mikolo gy’embaga n’okwanjula kubanga Katonda bw’agamba nti.... onoofumbirwa tewali ayinza kuwakanya oba okulemesa.

Mu mbeera eno agamba nti kizibu omuntu okutuuka ku buwanguzi yekka bwatyo n’ayita banywanyi be abamubeereddewo nga batoba n’ensi okuli: Ronald Mayinja, Geoffrey Lutaaya, John Ssegawa, Mariam Ndagire bamwegatteko banywemu n’okunyumyamu.

Yategeezezza nti tannaba kukola vidiyo kyokka okusinziira ku bubaka bw’afuna okuva mu bawagizi be, lujja kumukolera okumuzzaayo ku ntikko anti bw’agamba...!

Yakubirizza abavubuka bulijjo okukola ennyo, okuba n’essuubi n’obutaggwaamu maanyi nga balina kye batandiseeko kubanga tewali birungi by’oyinza kufuna nga tokoze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...

Omusajjangasimuulaengatozomulangiraherbertkimbugwe2 220x290

Bayiiyizza obukodyo bw’okuggya...

Abamu ku bagenyi abaabaddewo mwe mwavudde abasajja babiri abaakutte obutambaala nga buli munnabyabufuzi asituka...

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano