TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Shifrah Lukwago afunye omusajja muggya we n’atolotooma

Shifrah Lukwago afunye omusajja muggya we n’atolotooma

By Josephat Sseguya

Added 7th June 2018

OMUSUUBUZI w’omu Kampala alumbye munnabyabufuzi era Munnamateeka, Shifrah Lukwago lwa kumutwalako musajja we n’amulekera abaana.

Waapi 703x422

Yahaya ng’ali ne mukyala we Mariam. Ate ku ddyo, Shifrah Lukwago ne Yahaya nga baakasiba nikka.

Shifrah Lukwago eyaliko Sipiika wa KCC ku mulembe gwa Al Hajji Nasser Ntege Ssebaggala era eyali kansala ku lukiiko lwa KCCA nga yavuganyaako ne ku bubaka bwa Palamenti omukazi owa Kampala, ku wiikendi yakoze ‘nikka’ n’omusajja Yahaya Abdallah.

Shifrah yategeezezza Bukedde nti, baakoze ‘nikka’ wadde baabadde mu kisiibo, baakirabye nga kibagwanidde okubeera bombi mu mateeka g’eddiini n’ag’ensi era emikolo gyabadde gya kimpowooze obutaleekaanira basiibi era nti embaga yaakubaawo ng’ekisiibo kiweddde.

Wabula omukyala eyeeyise, Mariam Abdallah yayanguye n’ategeeza Bukedde afune engeri gy’amuyamba ku bba, Yahaya eyamulimbye nti agenda ku mirimu mitongole n’amugololera n’engoye wabula agenda okwekanga ng’alaba bifaananyi bya ‘nikka’ ekyamuyisizza obubi n’akubwa ne puleesa.

Mariam agamba nti Yayaha yamuleka mu maka gaabwe e Ttula- Kawempe okuliraana Mbogo High wabula bwe yalwadde n’agenda Hoima gy’ali kati mu Central Market gy’ayiiyiza bw’alikkakkana obusungu alikomawo e Kampala.

Mariam Abdallah attottola; “Nina obusungu kubanga nalaba Yahaya nga tukyasoma e Kawempe Muslim mu 2002 nga ndi mu S4 nga ye ali mu S6 ne tugenda e Kyambogo ku yunivasite. Oluvannyuma yajja awaka n’asaba taata wange, Sam Sserunjogi (yafa) eyakolanga ku UBC antwale n’amukkiriza.

E Kyambogo gye nafunira olubuto era oluvannyuma ne tweyanjula era tulina abaana bataano, omukulu wa myaka 17 ali mu S6.

Eky’Abasiraamu okuwasa abakyala abana sikirinaako buzibu naye Yahaya tabasobola kubanga tubadde baavu naye nga tukolerera baana.

Eddiini egamba nti obuulirako mukyala wo bw’oba owasa omulala wabula teyaηηamba.

Twali tuzza abaana ku masomero nga ndaba tatereera era yava awaka ng’agambye agenda ku mirimu gya kkampuni ate ηηenda okulaba ng’ali mu mikolo.

Nali nabiwulirako ne ndowooza ayagala kwesanyusa naye si kuwasa eddiini si bw’egamba,”.

Mariam bwe yeemulugunyizza. Bukedde bwe yatuukiridde Yahaya, yeegaanye eby’okusuulawo abaana be n’agamba nti Mariam by’ayogera ye Yahaya tabimanyi n’aggyako essimu.

Yahaya okusinziira ku Mariam azaalibwa Kaliro mu Busoga kyokka ng’alinamu omusaayi gw’e Saudi Arabia.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kola 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu, tukulaze...

OKUFAANANAKO Vanilla, abantu bangi baalima Moringa naye oluvannyuma ne bamutema yenna bwe baabulwa akatale era...

Abazibizi bayambye KCCA okusigala...

ABAZIBIZI ba KCCA okuli Peter Magambo ne Filbert Obenchan beetisse olunaku oluvanyuma lw'okuteebera ttiimu yaabwe...

Af09802412db404ba5f90092737e343c 220x290

Beeraze eryanyi mu mpaka za ddigi...

Bannayuganda bababuusizza 'ebibanda' mu mpaka za ddigi e Busiika

8501711138333059433538208315854187468423168o 220x290

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye...

Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye likodi y'ensi yonna

Writer 220x290

Omusajja yeetugidde ku buko!

OMUSAJJA agenze ku buko mukyala we gw’alinamu abaana mwenda gye yanobera ne yeetugira ku muti.