TOP

Mc Kapale bamulemesezza amabugo ga King Kong

By Josephat Sseguya

Added 19th June 2018

KAZANNYIRIZI MC Kapale bamugobye mu lumbe lwa King Kong nga bamwekengedde okubulankanya amabugo.

Pepu 703x422

MC Kapale ku ddyo ye mugenzi MC King Kong

Kapale nga ye yavaako enjogera ya ‘tolina waaka’ abantu ennaku zino gye bakozesa nga by’okola tebijja, yagobeddwa mu maka ga King Kong mu lumbe e Kanyanya ku Ssande ekiro ssaawa 5:00 ez’ekiro ng’atandise okusolooza amabugo.

BYAZZE BITYA:

Kapale, omu ku bakazannyirizi olwabadde okukwata akazindaalo, yakunze abantu okusonda amabugo okusobozesa okuziika omuntu waabwe obulungi.

Baatandise okusonda ng’akutte akazindaalo n’ekibbo mwe baabadde bagateeka ng’abantu bwe bayimba ennyimba z’ennaku okutuusa omu ku baabaddewo lwe yeemulugunyizza ensaasaanya yaago bw’eneebeera.

Wano Kapale yamuzzeemu nti, “Tonnasonda obuuza nsaasaanya, wabula abantu abamu ne bawagira omukungubazi eyalemesezza abalala okuwa amabugo ne batandika kuwoggana nga bagamugobako?”.

Naye nno tawena kubanga yabazzeemu nga bw’atayinza kulya mabugo ng’ate bo be bazze bassa ssente mu munnaabwe nga ne mu lumbe baabadde bamusazeewo balabe ebigaanye beesondemu ssente bakikoleko.

Kapale oluvannyuma yategeezezza Bukedde nti ye yamanya dda abantu nti tebasiima naye takifaako ne bwe baamubbiikiriza amabugo, eby’okumwogerera obubi yabimanyiira era n’okuziika yaziise eggulo e Gomba, King Kong gye yaziikiddwa.

King Kong ng’amannya ge amatuufu ye Hassan Lumu, yafudde musujja mu kiro ekyakeesezza Ssande mu maka ge e Kanyanya.

Abadde agatta okuzannya komedi, okuzina n’okukola obwa MC ku mikolo.

ENGERI AMABUGO GA BASEREEBU BWE GAZZE GABIZAALIRA ABANENE;

  • Mu May wa 2013 mu kuziika omuyimbi Martin Angume, waliwo abaakissa ku Andrew Benon Kibuuka nti amabugo gaamutabukako wabula yabyegaana ekyo ne kiva mu ddiiro.
  • January wa 2014, amabugo ga Paddy Bitama gaabizaalira abaali bakazannyirizi banne, Amooti Omubalanguzi ne DJ Messe wabula Amooti n’agamba nti ye yatwalako 50,000/- zokka ate Messe n’agamba nti agasinga naddala ge baasolooleza ku National Theater gaali ga bicupuli.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mag1 220x290

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi...

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi eyaleeta ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti aweereddwa obwa...

Bra1 220x290

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka...

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka z'emisono

Ritahpenny1 220x290

Akabaga k’amazaalibwa ga Ritah...

Ritah Penny bamukoledde akabaga k'amazaalibwa akamucamudde.

Lytobosswife4 220x290

Mukyala wa Lyto Boss asulirira...

Omuyimbi Lyto Boss yeesunga 'ssukaali' mukyala we asulirira kuzaala

Hazard333 220x290

Hazard asuubizza aba Chelsea

Hazard agamba nti bw'aliba avudde mu Real Madrid, ayinza okuddayo mu Chelsea.