TOP

Olaba amaanyi g’okwesala Rolexi!

By Musasi wa Bukedde

Added 5th July 2018

ENGERI bajeti ya minisita w’ebyensimbi gye yatandise nga nkambwe, Bannakampala ne Bannayuganda okutwaliza awamu nabo basaze amagezi ag’okweyiiya okulaba nga tebakosebwa nnyo mu nsawo.

Ge 703x422

Kati ebyana ate nno nga binyirira byatandise kwesala Rolex yadde minisita Kiwanda yagifuula kya bulambuzi.

Mu kutongoza ebikujjuko by’ekyokulya kino, ebimanyiddwa nga Rolex Festival ebyomulundi ogwokusatu ku kibangirizi ky’ekijjukizo ky’Ameefuga ku wooteeri ya Sheraton mu Kampala, baanabawala abatera okwekwatakwata mu byokulya tebaafunye buzibu kusimba layini kwefunira rolex abasinga kye bagamba nti kirwawo okuggwa mu lubuto.

Bakira afuna ng’atereera bulungi olwo amatama ne gadda mu kufunya bikonde.

Abaalabye ebyana nga biri ‘bbize’ ku chapati manya rolex bakira bagamba nti bano bajja kusobola bajeti eyalinyisizza emiwendo, kumpi egya buli kintu olw’emisolo egyabissiddwaako omuli n’ogwa whatsApp ne facebook kwe babadde basinga okumalira obudde.

Inid Mirembe akulira ebikujjuko bya Rolex Festival yagambye nti entikko yakubeerawo nga August 19 ku Uganda Museum era abayimbi okuli Fik Famaica, Vinka, Eddy Wizzy, Cindy n’abalala tebajja kulutumirwa mwana.

Omulamwa gw’omwaka guno gwa ‘Okwongera obuyonjo mu bafumba Rolex ku kkubo’.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA