TOP

Joanita Kawalya afunye omusika

By Musasi wa Bukedde

Added 6th July 2018

RACHEAL Namiiro owa Da Nu Eagles yeegulidde erinnya mu kuyimba nga bw’azina ng’anyeenya ekiwato n’okukankanya akabina n’atanula abasajja.

Senta 703x422

Racheal Namiiro afuuse ensonga.

Abagezezzaako okumwerijjako abaleka beenuguuna nga n’abamu empale zibalaluseeko.

Namiiro okuyimba yakutandikira mu kibiina kya Da New Eagles ng’akyasoma ku St. Johns e Bweyogerere mu 2014. Bwe yafuna omulimu okusoma n’akuvaako.

Alina ennyimba nga ‘‘Ngenderaayo n’Akatambaala’’. Mu Ngenderayo, Namiiro ayimba ku musajja gw’ayagala naye ng’amutya ng’alina gw’atuma agende amumugambire.

Yakoppa sitayiro ya Joanita Kawalya owa Afrigo Band gye bayita ‘Bosonova’ ey’omuntu ayimba ng’alembeggerera ate n’amala n’assaamu amaanyi ng’ayimba Lingala ow’Abacongo.

Agamba nti, yakula yeegomba Kawalya ng’omuyimbi era ng’awuliriza ennyimba ze nga ne mu kukola yintaviyu eyamuyingiza Da Nu Eagles z’e nnyimba ezaamuyisaawo.

Mu luyimba lw’Akatambaala ayimba ku musajja eyamuwa akatambaala n’amusaba akakuume wabula ne bakamubbako era abeera asaba mukwano gwe eyakamubbako akamuddize.

Kati aleese oluyimba olupya lwe bayita ‘‘Baby nsiyibwa’’ kyokka bw’omubuuza ekimusiiwa agamba kimuli ku mutima wadde abawagizi be balowooza birala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thumbnailkabongengomupiiraagulabiraeberuwekisaawe 220x290

Omutendesi Kabonge awanduse mu...

OMUTENDESI wa Katwe United FC mu Big League Allan Kabonge yeekandazze n’ava ku kisaawe ng’ayomba oluvannyuma lwa...

Thumbnailabazannyibacityoilersngabafaessanyulyekikopoekyomusanvu2 220x290

Aba City Oilers 2 batambulira...

ABAZANNYI ba City Oilers babiri mu liigi ya basketball eya babinywera,sizoni bagimazeeko nga batambulira ku miggo...

Genda 220x290

Abadiventi beebugira lukung'aana...

Ensi 13 ze zisuubirwa okwetaba mu lukungaana lw'aba Advent olutuumiddwa Kampala 2020 Mission Extravaganza Festival...

Sit16 220x290

Eyali yagongobala ateredde n'asuubiza...

Eyali yagongobala ateredde n'asuubiza okuddayo okusoma

Siminyu703422 220x290

Ab'ekitongole ekigaba paasipooti...

KAMISONA Brig. Johnson Amanya avunaanyizibwa ku Paasipooti n’okulondoola abasaba obutuuze, yategeezezza Bukedde...