Obwedda bazinira ddala amazina omuli n’okwenyiga omunyigo ndowooza nga bakoppa omuyimbi Chris Evans bye yabadde akola.
Katemba ono yabadde ku Nkrumah Road emabega w’ekizimbe kya Cham Towers.
Chris Evans yabadde akwata vidiyo y’oluyimba lwe olupya ‘Choice yange’ era abaabaddewo baanyumiddwa ne basalako oluguudo.