MWANAMUWALA Rema Namakula bwe yabadde agenda e South Afrika yasoose kusuulaayo ka vidiyo k’oluyimba lwe olupya ‘‘Touch my body’’ ekitegeeza ‘‘Kwata ku mubiri gwange’’. Lulimu ebigambo ebiwoomu n’amazina agateeka omuntu mu mmuudu ya laavu ng’eno Rema bwe yeegayirira omuvubuka gwali naye okumukwatako era akkirize nti bwanaamuwa ebyokulya anaabimalawo.
Oba biki by’ayagala okumuwa? Nze naawe. Wano abantu abaalabye ku vidiyo eno kwe kubuuza nti Rema anoonya muntu amutakula oluvannyuma lw’okufunamu ebizibu n’eyali bba?