TOP

Swengere yeekubako enjawulo!

By Musasi wa Bukedde

Added 7th August 2018

IVAN Muyonjo amanyiddwa nga Swengere oba ebivvulu byakola takyafuna bulungi ssente?

Buty 703x422

Twamuguddeko ku Main Street e Jinja ng’ali ku mudaala yeeyiwamu ekikomando.

Owoolugambo waffe atugambye nti yawaddeyo 2,000/- ne bamuwaako chapati ssatu ne bamuddiza ne bbaalansi wa 500/-.

Oluvannyuma yabuukidde bodaboda n’abulawo nga yenna musanyufu alinga agamba nti ekyemisana kiwedde.

Wabula waliwo abavubuka abaawuliddwa nga beebuuza nti Swengere yeekolako enjawulo oba embeera y’ebyenfuna y’emunyiga nga talina ssente zirya mu wooteeri n’okugula amafuta g’ateeka mu mmotoka ye.

Swengere gwe baakazaako erya ‘Ssereebu’ e Jinja azannya mu kazannyo ka Swengere ak’Olusoga akabeera ku Bukedde TV ng’ali ne mutabani we Kalibbala wamu ne Maama Kalibbala obunyumira ennyo abantu.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mema 220x290

Eyanoonyeza mu Bukedde ayanjudde...

ENDUULU ez’olulekereeke zaakubiddwa abeetabye ku mukolo nga Hadijah Namakula omutunzi w’engoye ayanjula bba Musa...

Lina 220x290

Balamu bange bannemesa eddya

NZE Grace Kentuwa 28, mbeera mu Zooni 7 e Makerere Kikoni mu muluka gwa Kawempe. Twasisinkana ne baze mu 2014 e...

Sadblackcouple 220x290

Omwami wange alina buzibu ki?

OMWAMI wange ansobedde. Nga tugenda okwebaka tayagala kwegatta naye mu kiro ssaawa nga 9:00 mu matumbibudde ankwata...

Rupiny1 220x290

Africell eyiye kavu wa bukadde...

KAMPUNI y’amasimu eya Africell etadde kavu wa bukadde 15 mu mpaka z’omupiira ez’okukuza amazaalibwa ga Yesu ezitegekeddwa...

Title 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YATUUSE DDA...

Militale etandise ebikwekweto bya Ssekukkulu era eyodde 200 abatigomya Kampala n’emiriraano.