TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Bukedde Ttivvi ekuleetedde omuzannyo oguyigiriza ebyobulimi owangule ne ssente

Bukedde Ttivvi ekuleetedde omuzannyo oguyigiriza ebyobulimi owangule ne ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 18th August 2018

Bukedde Ttivvi ekuleetedde omuzannyo oguyigiriza ebyobulimi owangule ne ssente

Pop1 703x422

ABALABI ba Bukedde TV babakubye enkata. Bagenda kunyumirwa omuzannyo oguyitibwa ‘Kabulonda mpeke’ nga bwe bawangula ne ssente. Ono y’omu ku kaweefube wa Bukedde Ttivvi okutumbula ebyobulimi.

Omuzannyo ‘Kabulonda mpeke’ gugenda kwongera okwagazisa abavubuka ebyobulimi n’obulunzi. Omuzannyo guno ogukutte abantu omubabiro, gulagibwa ku Bukedde TV1 buli Lwakubiri ku ssaawa 2:00 ez’ekiro.

Ng’oggyeko okunyumirwa ebitone by’abazannya omuzannyo guno okuli; Phillip Luswata (wansi ku kkono), Hellen Lukoma, Veronica Namaganda, Fabregas Lwanga n’abalala, ggwe omulabi oweereddwa omukisa okuwangula ssente.

Dorah Namala avunaanyizibwa ku kutumbula ebifulumira ku Bukedde TV agamba nti buli Lwakusatu n’Olwokuna mu pulogulaamu; Ekyenkya, Oluyimba Lwo n’Akayisanyo, abaweereza bagenda kuba nga bakubuuza ebibuuzo okuva mu muzannyo guno gwe walabye ku Lwokubiri nga bw’obiddamu mu butuufu ng’owangula ssente. Okuwangula weereza obubaka ku ssimu yo.

Wandiika ekigambo ‘Mpeke’ ddamu ekibuuzo oweereze ku 8338. Omuwanguzi ajja kuba akwasibwa ssente ze ku Lwokutaano mu pulogulaamu y’Akayisanyo. Omuzannyo guno guli ne ku Urban TV ku Lwomukaaga ng’eno baguyita ‘Empeke town’.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Malawo 220x290

Agula emmaali y’omufu mu bukyamu...

WADDE okufa tteeka naye kino tekikugaana kukola nnyo obeereko ebyobugagga by’olekera abantu bo ssinga Katonda abeera...

Ssenga1 220x290

Njagala kutandika bulamu

NNINA siriimu era mmaze naye emyaka egiwera. Baze yafa ne nsigala n’abaana naye kati mpulira nnina okufuna omusajja...

Img20190117wa0028 220x290

Sipiika alagidde Katuntu okuyimiriza...

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Kadaga alagidde akakiiko ka COSASE akakubirizibwa Katuntu akabuuliriza ku mivuyo egyetobeka...

Soma 220x290

Abatuuze katono batte be balumiriza...

ABATUUZE ku kyalo Kiryamuli mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso bakkakkanye ku basajja babiri abagambibwa...

Panda 220x290

Maneja Kavuma ayagala Abtex amuliyirire...

Olutalo lw’abategesi b’ebivvulu, Musa Kavuma (KT Events) ne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex lusituse buto....