TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Vision Group etadde ssente mu konsati ya ‘Embuzi zaakutudde’ eya Gravity Omutujju

Vision Group etadde ssente mu konsati ya ‘Embuzi zaakutudde’ eya Gravity Omutujju

By Musasi wa Bukedde

Added 24th August 2018

Vision Group etadde ssente mu konsati ya ‘Embuzi zaakutudde’ eya Gravity Omutujju

Fub2 703x422

KKAMPUNI ya Vision Group etwala ne Bukedde TV etadde ssente mu kivvulu ky’omuyimbi Gibson Wabuyo amanyiddwa ennyo nga Gravity Omutujju (ataddeko gaalubindi) ekigenda okubaawo nga September 22 omwaka guno ku kisaawe kya Cricket Oval e Lugogo.

Gravity ekivvulu kino akituumye “Embuzi Zakutudde Concert’’ nga ku mulundi guno waakubeera ku siteegi y’emu ne bannakatemba ba Ebonies era muzannyo gwabwe gwe batuumye Embuzi zaakutudde. Agambye nti nga bulijjo agenda kuwa abawagizi be eky’enjawulo ku nnyimba empya z’aleese ne z’abadde nazo.

Bills Mboyijana (wakati)omu ku bakitunzi ba Vision Group yategeezezza nti Vision Group erudde ng’ekolagana ne Gravity kubanga y’omu ku bavubuka abasinga okukuba ennyimba ezinyumira n’okuzzaamu abavubuka amaanyi n’essuubi ate nga ne Vision Group gwe mulamwa gwennyini gweriko.

Kitunzi wa Uganda Breweries ensogozi y’omwenge gwa Bell, Brian Sseruyiggo nga nabo bamutaddemu ssente yategeezezza nga Gravity bw’ali eky’okulabirako ekyamaanyi eri abantu bonna yasobola okuvaamu omuntu ow’omugaso eri eggwanga era n’ategeeza nti baakugenda mu maaso n’okumuwagira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bus1 220x290

Cranes egudde mu bintu

Cranes egudde mu bintu

Jip1 220x290

She Cranes etandise okutendekebwa...

She Cranes etandise okutendekebwa

Lib2 220x290

Omwana omulala afiiridde mu muliro...

Omwana omulala afiiridde mu muliro e Katwe

Kat2 220x290

Katikkiro Mayiga agumizza abantu...

Katikkiro Mayiga agumizza abantu ku nsonga y'Amasiro

Kabakamutebiii 220x290

Kabaka akoze enkyukakyuka mu kabineeti...

Kabaka akoze enkyukakyuka mu kabineeti y'e Mengo.