TOP

Muvubuka mpolampola tommennya!

By Musasi wa Bukedde

Added 17th September 2018

SSENTEBE ke tukuwadde akalulu kiwedde ababbi ogenda kubatukwatira.

Mpola1 703x422

SSENTEBE ke tukuwadde akalulu kiwedde ababbi ogenda kubatukwatira. Baabadde
boogera ebyo ng’eno bwe basala ddansi, okufuuwa ebbidde n’okulya obulamu.
 
Ebbinu lino lyabadde mu Kiggundu zooni Makerere Kavule bwe baalaze omukwano eri Paul Kibuuka ssentebe waabwe gwe baalonze eyawangudde banne bataano.
 
Bwe yamaze okulangirirwa n’ategekera abalonzi akabaga akeetabiddwaako abavubuka n’abakadde ne bakoona ddansi.
 
Endongo yawoomye olwo abavubuka ne bataayiza bamaama ne babanyiga omunyigo bo kye baayise okubawa ddoozi y’essanyu. Kyokka abamu baawuliddwa nga balaajana babanyige mpolampola.
 
Bino byabadde bigenda mu maaso nga Mary Namirembe, ssentebe abaddeko yeewuunya abantu okumuvaamu ku ssaawa envannyuma kyokka
n’abategeeza nti ssente za LC si zaabadde alyako.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...

Jangu 220x290

Maama alaajanira omwana we gwe...

ABATUUZE abaakedde ku muyiggo gw’okunoonya omwana wa mutuuze munnaabwe abadde yabula wiiki bbiri, baakubiddwa encukwe...

Kolayo 220x290

Ebizuuse ku babbi be battidde e...

OMU ku babbi abana abattiddwa e Mutundwe abadde muvuzi wa sipensulo era bangi baasoose kumugaanira olw’enneeyisa...