TOP

'Yinginiya' w'e Makerere bamukwatidde mu bubbi

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd September 2018

ANDREW Nyanzi 22, gwe baakwatidde mu dduuka lya Mega Supermarket ng’abbye ebizigo by’abakyala ebibalirirwamu 95,000/- yeesomye nga bwali yinginiya omutendeke okuva e Makerere kyokka ng’omulimu gwamuggwaako.

Gwa 703x422

Ggaayi ono obwedda abba ebizigo ng’abisonseka mu andaweya kyokka nga kkamera zimulaba. Abakuumi baagenze okumukwata nga yaakapakirayo obucupa butaano.

Mu kwewozaako, yagambye nti aludde mu mulimu guno ng’era ebizigo bino abiguza abayizi b’e Makerere n’afuna ssente ezimubeezaawo.

Ebizigo bino bigula 19,000/- mu Supermarket kyokka ye abadde abitunda 15,000/- buli kamu. Yategeezezza nti mu Supermarket eno yaakabbamu enfunda ttaano ne bamukwata enfunda ssatu.

Akulira ebyokwerinda ku supermarket eno, Felix Owiri yagambye nti, emirundi gye bazze nga bakwata Nyanzi babadde bamukozesa endagaano obutadda mu Mega wabula bamwekanga azzeeyo.

Yagambye nti lwe yasembayo okumulaba, yamutegeeza nti takyabba yafuna ssente ze.

Ku Lwokusatu yasoose kugenda n’abba ebintu naafuluma nabyo nga tebamulabye n’akomawo ku Lwokuna lwe ne bamuyoola.

Baamusasuzza 300,000/- ne bamuleka n’agenda kubanga buli lwe bamutwala ku poliisi bamuta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kig13 220x290

Robert Ssekweyama alangiriddwa...

Robert Ssekweyama alangiriddwa ku butendesi bwa Kiraabu ya Doves

Ras13 220x290

Ekyabadde e Bugembe nga Bebe Cool...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi