TOP

Isaac Nasser yeeyiyeemu Rolls Royce n’akontola

By Musasi wa Bukedde

Added 24th September 2018

ABAVUBUKA batandise okwetegekera amasappe ga Ssekukkulu. W’osomera bino g’omuvubuka Isaac Nasser ayingizzaawo ekyuma ekikambwe ekika kya Rolls Royce.

Rolls1 703x422

ABAVUBUKA batandise okwetegekera amasappe ga Ssekukkulu. W’osomera bino  g’omuvubuka Isaac Nasser ayingizzaawo ekyuma ekikambwe ekika kya Rolls Royce.
 
Talinze banywanyi be kuleeta zaabwe n’atandikirawo okugiriiramu obulamu nga bwe
yeewaana nti ababadde bawakana nti talina mpapula ng’olwo ategeeza ssente bajje bamulabe.
 
Omanyi loodi ono newankubadde ‘akantu’ akaweza ng’atera n’okutambulira mu mmotoka ez’ebbeeyi okuli nnamba puleeti eziri mu mannya ga Nasser, si musajja wa
masappe era bangi babadde bamwebuuza.

 

 
Owoolugambo waffe atugambye nti banne olwategedde nti ayingizzaawo enzirusi lubalala ne bakubagana era bangi bali mu bwama. Rolls Royce kye kimu ku bika by’emmotoka
ebisinga ebbeeyi.
 
Eno agigasse ku ndala z’alina okuli: Range Rover Sport, Benz ne BMW. Nasser ye muninkini wa Mastuula Mutaasa muwala w’omugagga Mutaasa Kafeero era nga yafuuse kyabulambuzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namatambaga1 220x290

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa...

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa

Kiru10 220x290

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe...

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe nga Kirumira bwe yakola - Bobi Wine

Twa 220x290

Museveni agguddewo olutalo oluggya...

PULEZIDENTI Museveni atongozza kaweefube ow’enjawulo agenderera okumalirawo ddala Siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira....

Many 220x290

Eyazadde abaana 5 omulundi gumu...

Honoranta Nakato, 44, abaana yabazaalira mu ddwaliro lya Women’s Hospital ,International and Fertility Centre e...

Dpn6kdew0aa2dy 220x290

Putin asuubizza okuyamba Uganda...

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, akubagizza Uganda olw’okufiirwa abantu abasoba mu 46 abaabuutikiddwa ettaka...