TOP

Poliisi tekyalina ssente zisasulira masannyalaze

By Musasi wa Bukedde

Added 30th October 2018

ABASERIKALE abakolera ku kizimbe kya CPS wiiki ewedde teyababeeredde nyangu.

Cps 703x422

Poliisi ya CPS mu Kampala.

ABASERIKALE abakolera ku kizimbe kya CPS wiiki ewedde teyababeeredde nyangu. Baagimazeeko bakolera mu nzikiza, ku missubbaawa n’abamu okukozesa ttooki
z’essimu.
 
Omanyi abakulu bano bakozesa enkola ya Yaka okusasula amasannyalaze gano. Kati ku Lwokubiri gaaweddeko ng’era abaserikale baabadde mu kubonaabona naddala abakola ekiro.
 
Owoolugambo waffe atugambye nti abasinga baaguzeeyo emisubbaawa gye baabadde bakozesa kyokka ng’abamu batya nti giyinza okuvaako obuzibu ne gibookya.
 
Ekyewuunyisa, ku kizimbe kino kuliko ofiisi ez’enjawulo omuli ey’omuduumuzi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano n’abakulu abalala.
 
Embeera eno ye yabadde ne ku poliisi ya Old Kampala. Abaalabye ku mbeera eno beebuuzizza oba omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola agimanyiko. Oluvannyuma baasasudde ne babazzaako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...