TOP

Eddie Kenzo akutudde ddiiru ne KT

By Musasi wa Bukedde

Added 31st October 2018

Eddie Kenzo akutudde ddiiru ne KT

Kt1 703x422

Eddie ne Musa Kavuma (KT) mu katono

OMUYIMBI Edirisa Musuza amanyiddwa nga Eddy Kenzo yeegasse ku Vision Group efulumya ne Bukedde okutegeka entujjo ye ey’okujaguza emyaka 10 ng’akubira Bannayuganda omuziki.

Ekivvulu kino ekituumiddwa ‘‘10 years of Eddy Kenzo’’ kigenda kubeera ku Serena Hotel mu Kampala nga January 4, 2019. Kitegekeddwa Musa Kavuma owa KT Promotions.

Bwe yabadde akutula ddiiru ne Vision Group, Kavuma yagambye nti omuntu yenna omukozi ng’ate muwanguzi alina okukolagana ne pulomoota omuwanguzi nga beegasse ku kkampuni empanguzi ng’olwo ategeeza Vision Group.

Kenzo eyatandika omuziki mu 2008 azze akuba ennyimba nga ‘Sitya Loss, Mbakooye, Maria Roza, Dagala, Mukomboti, Shauriyaako, Ndi byange, Vaayo’’ n’endala kyokka oluyimba lwa Sitya loss lwe lwamutunda mu nsi yonna mu 2014 n’atandika okuyimba ku bivvulu ebinene mu mawanga ag’enjawulo, abantu okumukkiririzaamu n’okuwangula engule ez’amaanyi nga BET Awards, Kids Choice Awards, Nickelodeon Awards n’endala nnyingi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga

Hat13 220x290

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega...

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega

Tum1 220x290

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi...

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere