TOP

Swengere akutudde ddiiru ne Bobi Wine

By Musasi wa Bukedde

Added 5th November 2018

KAZANNYIRIZI Hussein Muyonjo Ibanda amanyiddwa nga Swengere owa Bukedde TV akutudde ddiiru ne Bobi Wine (omubaka wa Kyaddondo East) ng’amannya ge amatuufu ye Robert Kyagulanyi.

KAZANNYIRIZI Hussein Muyonjo Ibanda amanyiddwa nga Swengere owa Bukedde TV akutudde ddiiru ne Bobi Wine (omubaka wa Kyaddondo East) ng’amannya ge amatuufu ye Robert Kyagulanyi.
 
Omanyi ggaayi ono Swengere y’omu ku bali mu vidiyo ya Bobi Wine ‘Kyarenga’ ng’azannya nga muganda w’omuwala Bobi Wine gwe yali akwana kyokka nga ye amwagaliza musajja mulala.
 
Gye buvuddeko Swengere ne banne bwe bazannya mu kazannyo ka Swengere ku Bukedde TVI baakyaliddeko Bobi Wine mu maka ge e Magere okumubuuzaako.
 
Owoolugambo waffe atugambye nti eno Swengere gye yasabidde Bobi okubeera omugenyi omukulu ku ntujjo ye gye yatuumye ‘‘The Swengere Experience’’
ng’alaga gyenvudde we egenda okubeera ku Trans Africa e Jinja nga December 1, 2018.
 
Agava e Magere gagamba nti Bobi Wine yakkirizza okusaba kwa Swengere era olw’essanyu naye n’amusimba ssegwanga n’enkota z’amatooke awuutemu ssupu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...