TOP

Olutalo lwa Barbie ne Owori luzze mu bawagizi

By Musasi wa Bukedde

Added 6th November 2018

OLUTALO lw’ebigambo wakati wa Barbie Kyagulanyi muk’omubaka Robert Kyagulanyi ne munnabyamisono Sylvia Owori luzze mu bawagizi nga kati buli omu be bamulwanira olutalo.

Geo1 703x422

OLUTALO lw’ebigambo wakati wa Barbie Kyagulanyi muk’omubaka Robert Kyagulanyi ne munnabyamisono Sylvia Owori luzze mu bawagizi nga kati buli omu be bamulwanira olutalo.
 
Embeera eno yavudde ku Sylvia Owori okulengezza Barbie ng’abuuza oba y’omu ku bakyala ab’amaanyi mu ggwanga.
 
Omanyi Barbie y’omu ku bakyala ab’ebitiibwa abaayitiddwa okukubaganya ebirowoozo ku by’obufuzi by’ekitundu kino n’omulamwa ogwabadde ku mukyala ow’amaanyi.
 
Era bino olwawedde Barbie n’ayita ku mukutu gwe ogwa Facebook n’asiima ab’ekitebe kya Bufalansa mu ggwanga okumulowoozako ne bamuyita okuba omu ku bagenyi abakulu okukubaganya ebirowooza mu lukuηηaana lwe bategese ku yunivasite e Makerere.
 
Abakyala abalala kwabaddeko: H.E Malac Deborah omubaka wa Amerika mu Uganda, H.E Stephanie Rivoal omubaka wa Bufalansa mu Uganda, D.r Maggie Kigozi, Hon. Winnie Kiiza ne Sarah Ssali owa Yunivasite y’e Makerere.
 
 wori Owori

 

Okuyitibwa kuno Barbie yakitutte nga eky’omuwendo era ekiraga nti kati afuuse wa maanyi era omu ku bakyala abatwalibwa ng’eky’okulabirako, ekintu Owori kyatakkiriziganya nakyo. Kino kyatabudde abawagizi ba Barbie ne bamulumba n’okumulangira ebikolwa omuli n’ebyobuseegu by’azze abeeramu ne bamusaba
akkirize nti awedde ku mpagala kati Barbie yaliko.
 
Kyokka n’aba Owori bagamba nti mutuufu kubanga akoze kinene okutunda eggwanga mu byemisono. Barbie mu mukwanukula yagambye nti: “Sylvia bw’oba ng’obadde
tokimanyi kituufu nze omu ku bakyala abafuuse ekyokulabirako mu ggwanga era naawe Sylivia oli kyakulabirako kyokka bwe baba tebakuyise tofaayo bajja kukuyita
ku mulundi oguddako’’.
 
Olutalo luno luyindira ku mikutu gya ‘social media’.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tap15 220x290

Engeri Corona gy’ayigirizza abakozi...

Engeri Corona gy’ayigirizza abakozi okuvuga eggaali

Det23 220x290

Ennyonja y’emmotoka etangira Coronavirus...

Ennyonja y’emmotoka etangira Coronavirus

Tap22 220x290

Abasomesa abatali ba Pulofeesa...

Abasomesa abatali ba Pulofeesa ku yunivasite bawadde obukwakkulizo

Lab15 220x290

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June...

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June 3

Kit1 220x290

Batutte omulambo ku disitulikiti...

Batutte omulambo ku disitulikiti lwa kubamma bbaluwa