TOP

Bano abawala amazina bazina ga kookoonyo

By Musasi wa Bukedde

Added 8th November 2018

Bano abawala amazina bazina ga kookoonyo

Web2 703x422

ABAYIZI ba Kyambogo University bakyekoze nga bakuba omuziki n’abawala ba kkampuni ya Pepsi abakola ogw’okusanyusa abawagizi b’empaka za University League. Bino byabaddewo ku Lwokusatu akawungeezi ttimu ya Bugema bwe yabadde ettunka ne Kyambogo mu mpaka zino.

Ng’omupiira tegunnatandika, abawala bano (aba Pepsi) baayingiddewo ne bakuba abawagizi emiziki kyokka nga bazinira mu maaso g’abayizi ba Bugema naye ng’engeri gye bazinamu oyinza okulowooza nti balina gwe bakookoonya.

Bakira bbo batunula butunuzi nga bwe babatenda okugonda ebiwato. Baatandise mpola okubasemberera era gye byaggweeredde nga batandise okweraga waaka mu ngeri eyacamudde abaabaddewo. Baazinye nga bwe beenyiga wamma omupiira gw’agenze okutandika ng’abasinga basanyufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Taata alumirizza bawala be okumukuba...

Taata alumirizza bawala be okumukuba

Tip1 220x290

Sharif Bogere asomesezza abazannyi...

Sharif Bogere asomesezza abazannyi b'e bikonde e Lugogo

Kab2 220x290

Kabushenga bamwongedde ekisanja...

Kabushenga bamwongedde ekisanja ky'okutegeka emisinde gya Kabaka

Fot1 220x290

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu...

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu mu Hockey

Waliyoomutweogulumiramuliisowebuse 220x290

Engeri ez’enjawulo obulumi bw’omutwe...

Manya ekika ky'omutwe ekiranga endwadde ekutawaanya n'eky'okukola nga tonnatuuka mu ddwaaliro okugukkakkanya