TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • OLuyimba lwa tukiggale lutabudde Carol Nantongo ne Racheal Namiiro

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde Carol Nantongo ne Racheal Namiiro

By Musasi wa Bukedde

Added 14th November 2018

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde Carol Nantongo ne Racheal Namiiro

Nan1 703x422

Carol Nantogo ku kkono ate ku ddyo ye Racheal Namiiro owa Da Nu Eagles sikaati gwe yagwako ng'ayimbira mu kivvulu kya Kyarenga

OMUYIMBI Carol Nantongo atabukidde muyimbi munne Racheal Namiiro ng’amulanga kuswaza linnya lye n’okukola ssente mu luyimba lwe olwa ‘‘Tukiggale’’ nga tamuwadde lukusa.

Kiddiridde Namiiro okusumulula sikaati manya sikaati okumugwako ng’ali ku siteegi ayimba ‘Tukiggale’’ ne Eddy Yawe e Busaabala mu Kyarenga n’akunamira abantu. Abantu abaamulabye baasoose kulowooza nti Carol Nantongo kubanga ye yayimbanga oluyimba luno ne Eddy Yawe.

Nantongo agamba nti waliwo abaamukubidde essimu nga bamubuuza lwaki yeeswaza atyo ekintu ekyamuweebudde. “Simanyi lwaki omuwala oyo yeesibye ku luyimba lwange era simanyi yamuwa lukusa kuluyimba kubanga teyasookedde Busaabala, azze aluyimba mu bifo eby’enjawuulo kati laba yagenze kunswaza’’. Agamba nti ekyasinze okumunyiiza kwe kuweereza Eddy Yawe obubaka ku ssimu ng’amubuuza ku by’okuyimba mu kivvulu kino n’atamuddamu ate yagenze okulaba ng’ayimba na Namiiro.

Kyokka Namiiro agamba nti ye talina musango kubanga Eddy Yawe ye yamusabayo ewa mukama we Geofrey Lutaaya mu butongole nga Nantongo amwecangiddeko ayimbe naye oluyimba luno naddala ku mikolo gye bamupangisizza era Yawe amusasula buli lwe bayimba nga n’e Busaabala ye yamututteyo.

Bwe twayogedde ne Eddy Yawe yagambye nti Carol Nantongo talina buyinza ku luyimba luno kubanga yamuyambako buyambi era y’asalawo ekyokulukolera n’ani gw’alina okuyimba naye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Taata alumirizza bawala be okumukuba...

Taata alumirizza bawala be okumukuba

Tip1 220x290

Sharif Bogere asomesezza abazannyi...

Sharif Bogere asomesezza abazannyi b'e bikonde e Lugogo

Kab2 220x290

Kabushenga bamwongedde ekisanja...

Kabushenga bamwongedde ekisanja ky'okutegeka emisinde gya Kabaka

Fot1 220x290

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu...

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu mu Hockey

Waliyoomutweogulumiramuliisowebuse 220x290

Engeri ez’enjawulo obulumi bw’omutwe...

Manya ekika ky'omutwe ekiranga endwadde ekutawaanya n'eky'okukola nga tonnatuuka mu ddwaaliro okugukkakkanya