TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Nnalulungi wa Uganda akoze likodi mu mpaka z’ensi yonna!

Nnalulungi wa Uganda akoze likodi mu mpaka z’ensi yonna!

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd December 2018

NNALULUNGI wa Uganda Quiin Abenakyo, ataddewo ekyafaayo! Afuuse Munnayuganda asoose okutuuka ku mutendera ogusembayo ogw’abawala 30 abasingayo obubalagavu mu nsi yonna abagenda okusindana okulondebwako Nnalulungi w’ensi yonna.

Quiin 703x422

Abenakyo, omwana enzaalwa ey’e Mayuge mu Busoga, yasunsuddwa mu bawala 118 bannalulungi b’ensi ez’enjawulo abaakuhhaanidde mu kibuga Sanya ekya China, okulondamu omuwala omu yekka agenda okutikkirwa engule ya ‘Miss World 2018’.

Abategesi b’empaka zino ez’omulundi ogwa 68 ezigenda okutuuka ku ntikko ku Lwomukaaga nga December 8, 2018, baataddewo emiziziko n’emitendera okusunsulamu abawala bakaalaala 118 okusobola okutuuka ku Lwomukaaga nga basigadde 30 bokka. Empaka zino zaatandika mu 1951.

Mwanamuwala Abenakyo teyalabizza ku njuba abawala abalala olw’engeri gye yayanukudde ebibuuzo, okukola zi poozi, okweyogerako, okumwenya n’okukola obukodyo obwalese abasazi b’empaka nga bamatidde nti agwanidde okufuna ekifo ku lukalala lw’abawala 30 abagenda okutuuka ku fayinolo.

Yayiseewo n’abawala abalala 29 b’oyiwako amazzi n’oganywa nga baavudde mu nsi okuli; Bangladesh, Chile, France, India, Japan, Malaysia, Mauritius, Mexico, Singapore, Thailand, United States, ne Venezuela.

Abenakyo okuyitamu yawangudde nnalulungi wa Argentine gwe yawangudde olw’engeri ey’amagezi n’obwongo bakira bw’akozesa ng’addamu ebibuuzo n’okwennyonnyolako ebintu eby’enjawulo by’akola mu Uganda.

Yabannyonnyodde nti alina pulojekiti ey’okuyamba abaana abawala abafuna embuto nga bakyali mu myaka emito n’abategeeza nti mu Uganda kizibu kinene nnyo eky’abaana abato abafuna embuto nga tebannatuuka myaka 18 nga ku buli baana abawala 5 abatannaweza myaka wakati wa 14- 19, omu alina olubuto oba yazaalako.

Ku Lwomukaaga, Abenakyo waakusooka okuvuganya ne banne 29 okulonda abawala 15 abasinze ku mutendera guno n’oluvannyuma ku bawala abo 15 kulondebweko abataano abagenda okusinziirwako okulonda abasatu abasinga nga kw’abo kwe kujja okulondebwako Nnalungi w’ensi yonna owa 2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...