TOP

Hajji Ntege Sebaggala aggudde ku Don Nasser emisango

By Musasi wa Bukedde

Added 6th December 2018

AL -Hajji Nasser Ntege Sebaggala aggudde omusango ku Don Nasser ng’amannya ge amatuufu ye Isaac Nduhukire olw’okweyita ky’atali n’afera Abazungu. Agamba nti Don yeeyita mutabani we ekintu ekikyamu kuba tamumanyi.

Wanna 703x422

Hajji Ntege Sebaggala. Ku ddyo, Isaac Nduhukire eyeeyita Don Nasser ng’ali mu kkooti.

Omuzungu Stella Harriet Slack ng’ayita mu bannamateeka ba Crane Associated Advocates ne Bbaale & Partners Advocates, naye yagguddewo omusango ku fayiro CS 867/2018 ng’alumiriza Don Nasser okumufera ddoola 250,000 mu ddiiru ya zaabu, asabye kkooti emuwalirize okuzimuddiza nga zirimu n’amagoba ga bitundu 20 ku 100.

Stella mu mpaaba ye agamba nti mu August wa 2017 Don Nasser yamuyingiza ddiiru ya zaabu n’amukakasa nti asobola okumuwa zaabu n’amutunda mu United Arab Emirates. Yamusaba ddoola 300,000 bamukebere oba mutuufu olwo amutikke ku mmeeri amumutuuseeko.

Olwakwata ssente yabawa lisiiti njingirire ng’akozesa kkampuni ey’ekiwaani. Bwe baamukwata mu September, yasasulako ddoola 50,000 ne baamuwandiisizza endagaano n’okumukwata ku katambi.

Bwe yatuuse mu kkooti yabyegaanyi n’ategeeza nti eyamuwawaabira mukwano gwe kyokka tebakolagana mu bya bizinensi. Baamusimbye mu maaso g’Omulamuzi Mary Babirye e Ntebe ne bamusomera egy’okufera Omumerika Johnhill ddoola 700,000.

Yabyegaanye Omulamuzi n’amusindika ku limandi mu kkomera e Kigo okutuusa December 17.

Munnamateeka we, Wycliff Tumwesige yategeezezza nti bagenda kusaba okumweyimirira.

Nasser baamukutte gye buvuddeko ne mikwano gye Hamuza Melema, Gilbert Sesaazi ne babatwala ku poliisi e Ntebe.

Eno baabatwala n’emmotoka ze okuli Rolls-Royce ne Cross Country UBE 602H. Meddie Sentongo y’omu ku baabadde bawondera Nasser okumununula.

Hajji Sebaggala obumu ku bujulizi bw’alina, kwe kuli akatambi ke yafuna okuva e Dubai abamu ku bajulizi kwe kuli Nnamwandu wa AK 47, Margeret Kiweesi alabikira mu katambi nga yeekokkola Don Nasser kubanga gwe yaferera e Dubai yamulabira ku ye kyokka nga bw’abeera anyumya naye akozesa erinnya lya Hajji Sebaggala.

Era lwe yamuleeta e Uganda yakolagana ne banne nga bamulambuza ofi isi ez’enjawulo nga bazitimbyemu ebifaananyi bya Hajji Sebaggala kyokka nga bagamba omukazi nti okumutuukako olina okuyita mu mitendera mingi.

Ng’amutegeeza nti alina zaabu mungi gw’asobola okubaguza. Omusango gw’okweyita ky’atali guli ku fayiro KMP GEF 322/2018 NE O/M/13/F/P.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Papa 220x290

Maama Fiina agulidde Abasiraamu...

ABASIRAAMU baweereddwa amagezi okukomya okulowooleza mu kulwanagana ng’engeri yokka ey’okumalawo obutakkaanya nga...

Stella 220x290

Stella Nyanzi agobye abamweyimirira:...

STELLA Nyanzi yeecwacwanidde ku kkooti ya Buganda Road n’agaana mikwano gye n’aba famire ye okuddamu okumweyimirira...

Funayo1 220x290

Abawaabi ba Gav't beegayiridde...

ABAWAABI wa gavumenti mu musango gwa Kitatta beegayiridde kkooti y’amagye e Makindye esingise Kitatta ne banne...

Goba 220x290

Emisota gigobye Pulezidenti wa...

EBYEWUUNYISA tebiggwa mu nsi. Emisota egyagobye Pulezidenti wa Liberia, George Weah mu ofiisi nakati gikyatabudde...

Nyiga 220x290

Bajjo anyiga biwundu nga bw’awera...

Ekivvulu kya ‘Kyalenga Extra’ bwe kyasaziddwaamu n’akanyoolagano akaabaddewo nga Bobi Wine n’abategesi bakwatibwa,...