TOP

Mukama yampa ekitone kati mbaleetera magoba

By Musasi wa Bukedde

Added 7th December 2018

EMYAKA giweze 10 ng’omuyimbi Ediriisa Musuuza amanyiddwa nga Eddy Kenzo akubira Bannayuganda omuziki.

Eddykenzostrikesapose 703x422

Eddy Kenzo

Olw’ebirungi by’afuniddemu, asazeewo okujaguliza awamu n’abawagizi be nga yeebaza Mukama okumuwa ekitone ky’okuyimba era agamba kati ayagala kubawa ku magoba.

Eddy Kenzo ng’ayambibwa Musa Kavuma owa KT Events, ategese ekivvulu ky’atuumye ‘‘10 years of Eddy Kenzo’’ ekigenda okubeera ku Serena Hotel mu Kampala nga January 4, 2019.

Enkeera nga January 5, ali ku Renahs e Kawanda ate ku Ssande abeere ku Freedom City e Namasuba. Kenzo yatandika n’ennyimba nga Sitamina, Bolingo, Sitya Loss, Soraye, Ogenda Kunzisa, n’endala ezizze zimutunda. Kati alina ennyimba ezisoba mu 100 z’agamba nti agenda kuzibakubira okuva ku nkadde okutuuka ku mpya nga ‘‘Mbakooye, Supa Dopa, Mukomboti, Dont Care’’ n’endala.

Ekivvulu kino kiwagiddwa Vision Group afulumya ne Bukedde. Okuyingira 100,000/- ne 3,000,000/- emmeeza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev3 220x290

Museveni agguddewo olusirika lwa...

Museveni agguddewo olusirika lwa NRM

Kab2 220x290

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka...

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka yaabwe bagikumyeko omuliro

Lab2 220x290

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda...

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda Cup n'okontola

Pop1 220x290

Okusunsula abayizi abagenda mu...

Okusunsula abayizi abagenda mu S5 kuwedde

Lop2 220x290

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze...

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze ne battako omu