TOP

Eddy Kenzo alumbye Serena

By Musasi wa Bukedde

Added 31st December 2018

Eddy Kenzo alumbye Serena

Keb1 703x422

EDIRISA Musuuza abangi gwe bamanyi nga Eddy Kenzo ekivvulu kimuwuuba. Ennaku zino asiiba atambula ku leediyo ne ttivvi ng’ategeeza abantu ng’olunaku mulindwa bwe lutuuse. Omanyi loodi ono ategese ekivvulu ekituumiddwa ‘‘10 Years of Eddy Kenzo’’ ku Serena Hotel mu Kampala ku Lwokutaano nga January 4, 2018.

Bwe yabadde ku Bukedde Fa Ma, mu pulogulaamu ya Bukedde Butya ne Simo Omunene w’omu kibuga wamu ne Kayibanda ku Lwokutaano, Eddy Kenzo yagambye nti alina ensonga lwaki ajaguza n’ayita abawagizi be okumwegattako kubanga ligenda kubeera ssanyu jjereere.

Yagambye nti agenda kukuba ennyimba ze enkadde nga Yannimba, Sitya Loss, Bolingo n’endala ezaamuyingiza ekisaawe ky’okuyimba okutuuka ku ziriko kati nga Mbakooye, Jubilation ne Love Don’t Care. Yagambye nti okuyingira 100,000/-, 300,000/- ne 3,000,000/-. Enkeera ajja kubeera ku Afro Club Kasangati ate ku Ssande abeere ku Freedom City e Namasuba. Ekivvulu kino kiwagiddwa Vision Group efulumya ne Bukedde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...