TOP

Omubaka Namujju kyaddaaki avuddemu omwasi mu Palamenti

By Musasi wa Bukedde

Added 8th January 2019

OMUBAKA omukazi owa disitulikiti ye Lwengo, Cissy Namujju Dionizia omwaka 2018 yagumazeeko na bisima.

Love 703x422

Yakoze ekyafaayo n’ateesa mu Palamenti omulundi gwe ogusoose era olwatadde akazindaalo wansi banne ne bamuyozaayoza.

Omanyi giweze emyaka ebiri n’ekitundu bukya babaka bano balondebwa mu palamenti eye 10 ng’era Namujju abadde tavangamu kigambo nga n’ebiwandiiko bya Palamenti omuwandiikibwa ebiba biteeseddwa (Hansard) taliimu.

Palamenti bwe yali egenda mu ggandaalo lya Ssekukkulu, Namujju yawanise omukono n’abuuza ekibuuzo nga yeemulugunya ku ttemu erisusse mu kitundu kye.

Yayogedde ku muwala Zahara Nakabugo 14, eyawambibwa gye buvuddeko. Olwatadde akazindaalo wansi babaka banne ne bakuba enduulu n’okukuba emmeeza nga bwe bawaga nti, “y’oyo Namujju”.

Ate n’ekibuuzo yabadde akisoma ku lupapula obutakola nsobi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye...

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye

Kab3 220x290

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza...

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza emmeeme

Gat2 220x290

Abayizi n’abaana nabo basobola...

Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo

Wab2 220x290

Nja kufiira ku babba eddagala -...

Nja kufiira ku babba eddagala - Ssentebe

Fut2 220x290

Omusawo bamukutte kufera bantu...

Omusawo bamukutte kufera bantu