TOP

Enzirusi y’omubaka Paul Luttamaguzi emweyagaza luno!

By Musasi wa Bukedde

Added 16th January 2019

OMUBAKA wa Nakaseke South mu Palamenti, Paul Luttamaguzi akooye eby’okwerumya ng’ate omusimbi agufunira ddala.

Lutta 703x422

Yeewaanye nga bw’akooye okuvuga mmotoka z’aba Japan ezivugwa n’abaana abaakafuna ku ssente n’asalawo okuyingizaawo mmotoka y’Omumerika eyitibwa Chrysler.

Abamanyi eby’emmotoka batugambye nti mmotoka eno bw’ebeera ku nguudo z’omu Kampala aba takisi tebagisemberera anti obukambwe bwayo bukirako Benz era bw’ogitomera osasula buwanana.

Ate owa takisi bw’alaba munne ng’avugisa ekimama ng’asemberera emmotoka eno, amukomako nga bw’amubuuza nti, ‘‘owange onoonya ki, oyo muggyawo tomulaba?’’ Kyokka waliwo atugambye nti engeri omubaka gye yayingizzaawo eggaali ekozeeko, nnamba UAT 498V, kirabika ssente ze yagigula ntonotono kubanga n’empya eri mu bukadde nga bubwo.

Wabula ye omukulu ayogera kimu nti eky’ebbeeyi kiba kya bbeeyi.

Oba ebbaati lyayo nalyo tebalitemamu sigiri ng’erya Benzi? Nze naawe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.