TOP

Rebecca Jjingo aleese Omusumaali

By Musasi wa Bukedde

Added 6th February 2019

OMUYIMBI Rebecca Jjingo alaze mwana munne laavu n’akkiriza. Obwedda beemoola mu ngeri y’okweraga amapenzi ng’eno buli omu bw’awuliriza akabugumu ka munne n’okufa essanyu.

Down 703x422

Olw’essanyu eringi, Jjingo yakutte ebifaananyi bino n’abiragako mikwano gye n’ebirala n’abiteeka ku yintanenti, Abataategedde kabadi ke yabaddeko baamusanyukiddeko n’okumuyozaayoza okwefunira omusajja alabika obulungi okumumalako ekiwuubaalo.

Ate abalala nti Jjingo omwaka 2019 aguyingidde na maanyi oluvannyumba y’okuyingizzaawo akanamba nga bwe yayimba mu lumu ku nnyimba.

Kyokka owoolugambo waffe yagenze okwetegereza ebifaananyi bino nga Rebecca Jjingo yabadde akwata vidiyo y’oluyimba lwe olupya ‘‘Obanzibidde emimwa’’. Yalukwatidde mu bitundu by’e Mengo ku ntandikwa ya February.

Ono azze akuba ennyimba ez’enjawulo okuli: Kanamba, Pair Pair, Akalira, Ndabira wa n’endala nnyingi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bim1 220x290

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka...

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka z'obubina

Lop1 220x290

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba...

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba ssente poliisi emukutte

Kis1 220x290

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya...

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo gutambula bulungi

Sarangabaagaembuzinekikondekyekunokwebayitaokugikubaekikondeweb 220x290

Ntunda mitwe gya mbuzi okuweerera...

Emitwe gy'embuzi gye nsasulwa mu kuzibaaga mwe mpeeredde abaana n'okwongerako emirimu emirala.

United1 220x290

Kiikino ekizembe kw’olabira Dubai...

DUBAI eyongedde okussaawo likodi! Ku kizimbe ekisinga obuwanvu mu nsi yonna, egasseeko ekizimbe ekyakulanga “Fuleemu”...