TOP

Abakola effujjo amaaso gabamyukidde mu lukiiko

By Musasi wa Bukedde

Added 10th February 2019

Abakola effujjo amaaso gabamyukidde mu lukiiko

Lap3 703x422

OLUKIIKO lwa LC n’abatuuze baayisizza ekiragiro ekigoba batuuze bannaabwe Swaib Kirumira ne munne Bamweyana ku kyalo nga babavunaana okutiisatiisa okuyiira abatuuze asidi, okuwemula abantu nga kwe batadde n’okukola effujjo n’okutyoboola abakululembeze ba LC. Mu lukiiko olwasooka Bamweyana yakwatibwa n’atwalibwa ku poliisi n’aggalirwa.

Kyokka bwe baamuta n’atandikira we yakoma. Kati abazadde b’abavubuka bano olwawulidde nti abatuuze batabuse kwe kutegeeza batabani baabwe okwetondera abatuuze ne LC n’okuwa obukakafu nti tebajja kuddamu kubakolako ffujjo.

Kino kyawalirizza Paul Kibuuka Ssentebe wa Kiggundu zooni okuddamu okukuba olukiiko lw’ekyalo Kirumira ne Bamweyana mwe bavunnamidde ne beetondera abatuuze ne babasonyiwa nga babataddeko obukwakkulizo okuli obutaddamu kuwemula, okuwa LC ekitiibwa, okukomya okutunda enjaga , obutaddamu kuleekaanya bidongo mu bbaala yaabwe n’okukomya okutiisatiisa abantu okubayiira asidi. Kibuuka yagambye nti baweereddwa omukisa gumu okwetaasa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fire1 220x290

Obubenje bwatuze 32 mu wiikendi...

OMUWENDO gw’abantu abaafi­iridde mu bubenje obwaguddewo ku Ssande gulinnye nga baweze 32.

Aniteweb 220x290

Bamafia baagala kunzita - Anite...

MINISTA omubeezi avunaanyizibwa ku bamusiga nsimbi, Evelyn Anite avuddeyo n’alaajana ku bamafia abaagala okumutta,...

Isabirye1 220x290

Mzee Kifansalira owa NRM bamugoba...

KAKUYEGE wa NRM mu Bwaise, Isabirye Musa amanyiddwa nga “Kifansalira” asula ku tebuukye olwa landiroodi we okumulaalika...

Urawebnew 220x290

URA emalidde mu kyakutaano mu za...

URA FC ewangudde Wakiso Giants mu mpaka za Pilsner Super 8

Mustafi000 220x290

Mustafi wa Arsenal agenda

Roma eya Yitale, ye yagala okumuggya mu Arsenal