TOP

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

By Musasi wa Bukedde

Added 17th February 2019

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Lap2 703x422

AKAMWENYUMWENYU ko Tom Katende (Mayinja ) ke tusigazza ku maaso ne ku mwoyo buli lwe tukulowoozaako nga tulina obwetaavu kyokka nga tolabikako. Watuvudde ku maaso nga December 3, 2018 ne tukugalamiza ku biggya bya bajjaajjabo e Kaliisizo mu disitulikiti ya Kyotera.

Nga famire ne mikwano gyo, bwe tubadde mu mulimu gw’okukuba ebifaananyi tugenda kukusubwa olw’omukwano n'ekisa ky’obadde nakyo ekiyiika ng’omubisi gw'enjuki .

Obadde n’akaseko aka buli kiseera akatakuva ku matama. Mayinja nga ne bwe tukunyiiza ku maaso osigala oli musanyufu nga toyagala bikukooya. Mbadde nkutwala nga muto wange kubanga bwe tuwangadde mu mulimu gw’okukuba ebifaananyi mu Kampala n'emiriraano ate obadde onyamba.

Ku myaka 45 kwe wafi iridde tubadde tukwenyumirizaamu olw’embeera y'emirimu gyaffe gye tukola n’okusoomoozebwa. Mayinja tuwangadde naawe mu mulimu guno nga watandika oli muvubuka ng’okuba ebifaananyi mu byalo oluvannyuma n’oyingira ekibuga. Eno gy’okugukidde era ne weeyiiya n'otandika bizinensi etunda kkamera ebadde etuyamba ng'abali mu mulimu guno.

Kizibu abantu okujjukira gye nvudde waabwe naye Mayinja obadde oyamba abantu abali mu mbeera embi naddala ssinga obeera ofunye obuzibu ne kkamera ng’osobola okugyazika omuntu yenna n'agenda amaliriza omulimu oluvannyuma n'agikomyawo. Kino batono ddala abakyayinza okukikola.

Ofudde obulwadde bwa kookolo w’emimiro naye tujja kulwawo okukwerabira. Mukama akuwummuze mirembe. Nze Shoni Michael Ssemanda, omukubi w'ebifaananyi ku Wilson Street

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte