TOP

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

By Musasi wa Bukedde

Added 17th February 2019

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Web2 703x422

GERTRUDE Gulemye okyajjukirwa olw’okwolesa enjiri ey’ebigambo n’ebikolwa Kati guweze omwaka omulamba bukya Gertrude Gulemye Katonda amujjulula okuva mu bulamu bw’ensi obujjudde okusoomosebwa n’amutwala mu ggulu okuwummula.

Obulamu bwa Gulemye bwali bujjudde ekisa, okwagaliza buli omu okubeera obulungi, okwaniriza buli muntu mu maka ge wabula ng’ekisinga mu byonna yayagalizanga buli muntu okwetwalira obulokozi ng’ayita mu kumubuulira ekigambo kya Katonda.

Wadde nga yayita mu kusoomoozebwa okw’enjawulo mu bulamu bw’ensi omuli okufi irwa bba n’abamu ku baana be Gulemye yasigalira ku kigambo kya Katonda kuba y’awa era yaggyawo era nga kino teyakitwala nga kikulu mu bulamu bwe wabula okukuu- ma okukkiriza.

Gulemye yayagala nnyo ekika kye, wabula baganda be ssaako ne bannyina n’abaagala eky’ensusso era ng’afaayo okuwuliza ebiba bigenda mu maaso mu Kika kye. Wadde we wafi ira wali ogenda onafuwa mu bulamu bw’omubiri, wafangayo era ne weewalirizanga okulambula abalwadde, okugenda ku mikolo omuli embaga ssaako okuziika.

Twebaza Katonda olw’obulamu bwo obwali bujjudde ekisa kungulu ne munda kuba yafa talina bukyayi ku muntu yenna ku kyalo n’awalala. Gulemye yali mutuuze w'e Nakulabye mu Kampala ng'azaalibwa omugenzi Samuel Balagaddde Katazza e Nabutitti - Bukuya mu Ssingo nga yazaalibwa nga September 15, 1932 n’afa nga January 20, 2018 oluvannyuma lw’okutawaanyizibwa obulwadde bw’entunnunsi. Yaziikibwa ku biggya bya bakadde be Samuel Balagadde Katazza. Nze Barbra Namutebi, muzzu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte