TOP

Nantume ali ku Obligatto mu Ndi muzadde Concert

By Musasi wa Bukedde

Added 5th March 2019

EBULA olunaku lumu omuyimbi Maureen Nantume asumulule endongo ennebayisa mu lunaku lw’abakyala.

Nantumemaureen1mesachssemakula 703x422

EBULA olunaku lumu omuyimbi Maureen Nantume asumulule endongo ennebayisa mu lunaku lw’abakyala.

Ebbinu lino ‘‘Ndi muzadde Concert’’ ligenda kubeera ku Club Obligatto ku Lwokutaano luno nga March 8, 2019.

Musa Kavuma owa KT Events ategese ekivvulu kino yategeezezza nti buli kimu kyawedde dda nga bamulinze muyimbi kulinnya siteegi alage abawagizi be kyalinawo. Maureen Nantume ayimbira mu Golden Bandi ng’azze akuba ennyimba okuli: Siri ndogoyi, Nkuze, Talemwa, Abakozi ba safaari, Weebale kunfubutula, Oyitirizza okungeyeengula, Kisaaganda, Omutugunda n’endala nnyingi.

Awerekeddwako Rema Namakula, David Lutalo, Spice Diana n’abayimbi ba Golden Bandi bonna. Okuyingira 20,000/- ne 50,000/-.

Nga March 9,  ali ku Afro Club Kasangati,  Rose Gardens e Kyengera nga March 10, Geogina Gardens e Lubya nga March 15, Finland Kawuku nga March 16 ate nga March 17, Lukaya. Ekivvulu kino kiwagiddwa Vision Group efulumya ne Bukedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye...

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye

Kab3 220x290

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza...

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza emmeeme

Gat2 220x290

Abayizi n’abaana nabo basobola...

Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo

Wab2 220x290

Nja kufiira ku babba eddagala -...

Nja kufiira ku babba eddagala - Ssentebe

Fut2 220x290

Omusawo bamukutte kufera bantu...

Omusawo bamukutte kufera bantu