TOP

Nze siva wano mpozzi nga muleese guleeda

By Musasi wa Bukedde

Added 10th March 2019

ONO maama w’abaana Lilian Nabukenya buli lw’ayiwa otwenge mu ttama ng’atabuka. Ava mu mbeera n’amokkola agagambo nga bwavuma buli amusala mu maaso omuli n’abaana abato.

Panta 703x422

Abazadde balabye kibasusseeko kwe kumuwawaabira ewa ssentebe w’ekyalo mu Ddobi Zooni. Azze amuyita enfunda eziwera ng’amulabula ku muze guno kyokka nga tawulira.

Balabye kisusse, ssentebe Paul Mukwaya kwe kutuuza olukiiko lw’ekyalo okukangavvula Nabukenya.

Bwe baamugambye nti bamuwadde emyezi ebiri asenguke n’akontola ndowooza ng’abiyita bya lusaago kyokka yagenze okulaba nga buli omu amuwaako obujulizi omuli ne baabadde ayita mikwano gye.

Nabukenya yawuliddwa nga yeeyogeza nti ku nsi teri kigambo kiwemula era buli ekiri ku mubiri gw’omuntu si kibi era talaba lwaki akyogera akikweka.

Yagasseeko nti tagenda kuva ku kyalo kino okuggyako nga baleese guleeda kubanga ‘Endagamuntu’ gy’alina eraga nti mutuuze wa Dobi zooni.

Bwe yalabye ng’abatuuze bamukaliddemu kwe kusaba bamusonyiwe omulundi ogusembayo kyokka ne bagaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasirye1 220x290

Batadde kkamera 200 e Namugongo...

ABABADDE beesunga okukola effujjo e Namugongo bubakeeredde, abeebyokwerinda bwe baatadde kkamera ezisboba mu 200...

Vision Group etegese omudaala ttabamiruka...

OLWALEERO kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde etegese olukung'aana lw’okukubaganya ebirowoozo n’okusomesa...

Chelsealampard 220x290

Chelsea eswamye Lampard

Abakulira Chelsea tebaamatidde bukodyo bwa Sarri era banditandika okuyigga omutendesi omulala

Funa1 220x290

Engeri abakola mu bbanka gye babba...

POLIISI mu kubuuliriza kwayo ku mukozi wa Barclays Bank, Nashiba Naiga agambibwa okubba obukadde 190 ku akawunta...

Sula 220x290

Abadde yeefudde mmo okubba abagagga...

POLIISI ekutte omukazi agenda mu bbaala ne wooteeeri ez’ebbeeyi okusikiriza abasajja okumukwana oluvannyuma n’abakuba...