TOP

Walukagga amaliridde okulumba Nsangi

By Musasi wa Bukedde

Added 11th March 2019

OMUYIMBI Mathias Walukagga yeegasse ku bayimbi banne ne bannakatemba abatandise okwesoma n’okulangirira ng’asaba abantu okumulabiranga ddala mu 2021.

Walukaggamatthiasbitaboa 703x422

Matthias Walukagga

OMUYIMBI Mathias Walukagga yeegasse ku bayimbi banne ne bannakatemba abatandise okwesoma n’okulangirira ng’asaba abantu okumulabiranga ddala mu 2021. Avudde e Kinyerere mu Masaka gye bamuzaala n’ayingira ekibuga.

Asibidde Nsangi Town Council era agavaayo gagamba nti ayagala kusuuza Gavana Abdu Kiyimba eggaati ly’aliiridde ebbanga. Bwe yabadde mu kivvulu kya Maureen Nantume ku Club Obligatto ku Bombo Road ku Lwokutaano, yazze yeesaze omujoozi omweru oguliko ekifaananyi kya Nelson Mandela. 

Olwamaze okuyimba n’aleekaanira waggulu nti ab’e Nsangi mundabiranga ddala mu 2021 ate njagala ekisanja kimu kyokka nga Nelson Mandela. Wano omu ku badigize kwe kuleekaana nti, ‘naawe Walukagga tuleke, olina empapula ezikutwala e Nsangi’’.

Omanyi okusinziira ku bikwata ku muyimbi ono ku mukutu gwa yintanenti, biraga nti yazaalibwa omugenzi Kilizanto Kisirinya Buyondo ne Muky. Stephanie Namuyimbwa n’asomera ku Kinyerere Church of Uganda Primary School ne St. Anthony Senior Secondary School. Wano banne baali bagenda ku ssomero ye ng’ayingira bikaali gye yatandikira okuyimba.

Kati tetumanyi oba ebitabo bino yabyongerako okumutuusa ku mmeeza okuliirwa eggaati. Tunnabiwulira!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Looya alaze engabana y’emmaali...

Looya alaze engabana y’emmaali

Kip3 220x290

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane...

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane kati

Kip2 220x290

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa...

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa

Hot3 220x290

Maama bangi be wasigamu ensigo...

Maama bangi be wasigamu ensigo ey’okwagala Katonda

Hot3 220x290

Twakufuna nga kirabo okuva eri...

Twakufuna nga kirabo okuva eri Omutonzi