TOP

Faaza, okikoze!

By Musasi wa Bukedde

Added 25th March 2019

Faaza, okikoze!

Hib3 703x422

“HOOO....Faaza otuwadde oluwenda n’okoonera ddala ku kizimba era ezzike liiryo genda owuuteemu ssupu’’. Ssentebe wa LCV e Ntebe era Munna DP, Jude Mbabali ye yasoose okulumba Fr. Mayanja okumwebaza olw’ebigambo bye yayogedde.

Ne banna DP abalala okwabadde Florence Namayanja ne Henry Bazira Ssewanyana baamwegasseeko ne bafuuwa manya okuwa Faaza ssente nga bamwebaza olw’ebigambo bye ebyacamudde abantu.

Omanyi Fr. Mayanja mu kuziika munywanyi we Fr. Gerald Mukwaya e Bukalasa, Kalungu yateera aba NRM akaka nti bye batuusizzaako Bannayuganda byakubakyukira mu dda.

Kyokka Fr. Mayanja yabeesammudde nti ye ssi munnabyabufuzi wazira aggusa nsonga ez’okulung’amya ebitonde bya Katonda. Bangi baawuliddwa nga bassa ekikkowe nti era kale, ‘‘awo tunnanywerawo ku mazzi’’.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA