TOP

Yiii laba ennugu!

By Musasi wa Bukedde

Added 25th March 2019

POLIISI eggalidde Musa Mukwaya olw’ebigambibwa nti yayokezza omusiri gw’ennyanya za Ssentebe w’ekyalo Godfrey Gyagenda.

Musamukwayaakwatiddwa3aaa 703x422

Owa poliisi ng'atwala Mukwaya ku poliisi

POLIISI eggalidde Musa Mukwaya olw’ebigambibwa nti yayokezza omusiri gw’ennyanya za Ssentebe w’ekyalo  Godfrey Gyagenda.

Poliisi olumukutte ne yeewozaako nti tagenderedde yabadde ayokya bisubi omuliro ne gumusinza amaanyi olw’empewo eyabadde ekunta ne gusala ne guyingira mu nnyanya za Gyagenda.

Gyagenda yagenze okutuuka ng’omusiri guweddewo. Abamu ku batuuze baagambye nti yandiba ennugu. Bino byabadde ku kyalo Kiragga mu ggombolola y’e Lwabenge mu Kalungu wiiki ewedde.

Akulira poliisi, Emmanuel Bateishire yayitiddwa n’alambula omusiri guno oluvannyuma n’akwata Mukwaya n’amuteekako empingu n’amutwala ku poliisi.

Ssentebe yagambye nti Mukwaya asussizza empisa embi nga n’olumu yateeka empiira ezikuba amazzi mu luzzi lw’abatuuze n’asenamu amazzi n’alukaliza ne babonaabona n’amazzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri...

Ekibiina ekigatta bannannyini mawoteeri kivuddeyo ku bye bbibiro lya Murchion Falls

Afiiriddemukkanisa3 220x290

Afiiridde mu kkanisa

Poliisi y’ekitundu ereese kabangali okutwalirako omulambo mu ggwanika kyokka abagoberezi ne bagiremesa nga bagamba...

Dsc8388 220x290

Weewale okukuba endobo mu mmotoka...

N (Neutral) baagiteeka mu mmotoka si kugikozesa kukuba ndobo wabula kwawula D (Drive) ne R (Reverse).

Abasubuuzingabatunuliraemaaliyabweeyayidde2 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ekibanda...

Bano balumiriza omukulu w’essomero lya Biral P/S, Tekana Bruhan erisangibwa e Bwaise okuba emabega w’okwokya ekibanda...

Lop2 220x290

Ssebo Square Milez omukono teguwaba...

Ssebo Square Milez omukono teguwaba