TOP

Omuyimbi Irene Ntale akooye abakwabuzi

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd April 2019

IRENE Ntale ayingidde ekisaawe ky’abanoonya nga kati anoonya musajja waabuvunaanyizibwa akooye abakwabuzi. Gye buvuddeko Ntale abadde n’abavubuka ab’enjawulo bapepeya nabo naye ng’ekiseera kituuse nga takyabisobola ng’awulira ayagala omusajja anaamukuba embaga amuggya ku mudaala.

Irenentale22jpgweb 703x422

Omuyimbi Irene Ntale

IRENE Ntale ayingidde ekisaawe ky’abanoonya nga kati anoonya musajja waabuvunaanyizibwa akooye  abakwabuzi.

Gye buvuddeko Ntale abadde n’abavubuka ab’enjawulo bapepeya nabo naye ng’ekiseera kituuse nga takyabisobola ng’awulira ayagala omusajja anaamukuba embaga amuggya ku mudaala.

Wabula ku bavubuka gwe yasinga okulwawo naye yali Jonathan Kyeye eyali nnannyini bbaala ya Laftaz era ng’okuva bwe yagenda mu Amerika, eby’omukwano Ntale yabivaako n’atandika okupepeya n’abavubuka ab’enjawulo nga muno mwe mwali naabo abaali mu kibiina kya Rich Gang ekyayabika oluvannyuma lw’eyali akikulira Ivan Ssemwanga okufa.

W’osomera bino, Ntele ali ku mudaala era mwetegefu singa wabaawo omusajja yenna awulira ng’amwetaaga ateekemu foomu ng’enjogera y’ennaku zino. 

Bino yabitadde ku mukutu gwe ogwa Face book nti ayagala musajja ali siriyaasi akooye eby’ekiyaaye.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana