TOP

Owa ‘Kyalenga’ yalese ab’e Sausi bayomba

By Musasi wa Bukedde

Added 8th April 2019

NGA Bannayuganda e South Africa bakyatenda omuziki Bobi Wine gwe yabakubye mu bivvulu bya ‘Kyalenga Extra’ bye yayimbye ku nkomero y’omwezi oguwedde, bo abategesi b’ebivvulu, Nnalongo Rahma Gibril ne Ali Mawale baasigadde bagugulana.

Kyarenga 703x422

Nnalongo Rahma Gibril owa A.G Promotions yekokkola Ali Mawale (naye omutegesi w’ebivvulu) gw’agamba nti ng’oggyeko okumufiiriza, yamukubye ekikono n’okumubbako ‘sho’ ng’alaga nti ye yategese Bobi e South Africa.

“Ddala lwaki otuulira munno olw’okuba mupya mu bizinensi ate ng’okimanyi ataddemu ssente nnyingi anoonya naye kuvaayo gwe n’osalawo okweteeka mu butaala olage nti ekintu kikyo olw’okuba okiruddemu.

Nze ne Haddy ffe twategese Bobi era twamutaddemu ssente mpitirivu naye olw’effujjo eryakoleddwa tetwasobodde kuziggyayo tuli mu mabanja.

Kale ekyo tekyandibadde kikulu kubanga tusobola okwekwatakwata ne tufuna ssente ezo naye njagala Ali akitegeere nti okumwebuuzako ng’aludde mu kintu tekimufuula nnannyini kivvulu,” Nnalongo Gibril eyabadde ayogezza obusungu bwe yagambye.

Ali Mawale bwe yatuukiriddwa ku ssimu yasoose kugamba nti talina ky’amaanyi ky’ayagala kwogera ku nsonga eno kubanga Nnaalongo anoonya kumukolerako mawulire.

Oluvannyuma yagambye nti “Abantu bazibu teyandibadde Nnaalongo okuba nti y’ayogera bino.

Bantuukirira mbayambeko okuleeta Bobi kubanga bakimanyi ‘chali’ wange.

Mu kusooka nnali ng’anye naye bwe baneegayirira ennyo kwe kukkiriza mbayambeko n’emmotoka ezaatambuza omuyimbi zaabadde zange naye sikyogerangako nti nze mmulese era y’ensonga lwaki nagaana eky’okukozesa kkampuni yange eya Alima Promotions nga bwe baali bansabye kubanga nze eby’okuleeta abayimbi nabivaamu kati emyaka ebiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo