TOP

Kenzo asiibirira kikomando na munaanansi?

By Musasi wa Bukedde

Added 10th April 2019

OMUYIMBI Eddy Kenzo obuwuulu kye bumukola enkoko baana. Agava mu nkuubo gagamba nti okuva eyali muninkini we, era maama w’omwana we, Rema Namakula lwe yanoba, asiibirira kikomando na munaanansi.

Panda1 703x422

Kenzo nga yeesala ekikomando n'akanaanansi

Wadde nga Kenzo yakulira mu Ghetto, ebiseera ebisinga aba ayagala okwejjukanya mu mbeera gye yakuliramu wabula ennaku zino, embeera y’obuwulu nayo temuganya kwefumbira anti eyali amumanyidde okumutokoseza ettooke yasikamu ng’enjogera y’ennaku zino nga kati abuyiwa Namugongo.

Gye buvuddeko, Kenzo yatadde obubaka ku mukutu gwe ogwa Face book ng’agamba nga bw’amaze ebbanga nga talya ku kikomando na munaanansi era abadde abisubwa, wano abamu we baatandikidde okumulumba nti enjala y’emwogeza era yeekubya mizimu.

Manya okweteekawo mu kifo ky’okukkiriza nti eyali amufumbira yanoba.

Wabula Rema ali mu kutalaaga Bulaaya yasinzidde e Denmark n’akola ka vidiyo ng’alaga nga bw’amanyi okufumba emmere ewooma kyokka yeewuunya omusajja amuleka n’adda mu kulya ebikomando so nga ye kafulu mu kufumba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...