TOP

Abebivvulu beesunga mudidi gwa Pulezidenti

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd April 2019

OMUKWANAGANYA w’ekibiina kya UMP-NET omuli abayimbi, abategesi b’ebivvulu ne bannakatemba, Tonny Ssempijja ng’ali ne Gen. Salim Saleh akulira ‘Wealth Creation’ abakulembeddemu ebibiina by’abayimbi ne bannakatemba ne babatwala mu maka ga Pulezidenti e Ntebe okumubuulira ebizibu byabwe yeeyamye okutumbula omulimu gwabwe bwe banaaba bakwasiddwa ssente Pulezidenti ze yakkirizza okubongera.

Untitled3 703x422

Mu bano mwe mwabadde n’abategesi b’ebivvulu abaludde nga bakaaba olwa ssente zaabwe ezaafiira mu bivvulu bya Bobi Wine ebya Kyarenga bye baali bategese wakati wa Octobere 20, 2018 ne January 2019 ne bisazibwamu.

Tonny Ssempijja yajjukirizza Pulezidenti Museveni ssente ze yabasuubiza oluvannyuma lw’okubawaako obukadde 200.

Mu babanja kuliko n’abaali bategesi ebivvulu mu kiseera Bobi Wine we baamukwatira e Ggulu n’okumusiba.

Ssempijja yategeezezza nti baabazeemu 1,857,340,000/- ezigenda okusasulwa bapulomoota 16 okwetooloola eggwanga era n’akkiriza okuzibawa.

Kyokka yabalabudde nti bw’abawa ssente zino bagende bakole emirimu gyabwe nga temuli byabufuzi era abanaabigattamu ajja kubayimiriza.

‘‘Bannange, mundeke nze amanyi ebyobufuzi nkolagane ne bannabyabufuzi ffe tumanyi olulimi lwe twogera’’.

Mu nsisinkano eno yakkiriza okuyamba bakanyama abeegattira mu kibiina kya Umbrella for Uganda Bouncers Association (UBBA) okubatendeka baweebwe yunifoomu, densite, Radio Calls ne ssente z’okwewola bakulaakulanye omulimu gwabwe.

Mu lukiiko luno, Pulezidenti yakwasizza Gen. Elly Kayanja okumuyambako ku nsonga z’abayimbi, bannakatemba n’abategesi b’ebivvulu.

Abalala abaabadde mu lukiiko luno kuliko: Omumyuka wa Salim Saleh ku bya Wealth Creation, Lt. Gen. Charles Angina, minisita Nakiwala Kiyingi, Minisita Haruna Kasolo, omuyimbi Geoffrey Lutaaya ku lwa Dream Artist SACCO eyajjukiza Pulezidenti ssente ze yabasuubizza n’alagira babawe obukadde 200, Mariam Ndagire eyakiikiridde abayimbi abakyala, Andrew Benon Kibuuka n’abalala.

Pulezidenti Museveni ng’abuuza ku Kibuuka. Ku ddyo ne Tonny Ssempijja omukwanaganya wa UMP-NET.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...