TOP
  • Home
  • Kasalabecca
  • Ssegirinya waabwe lwaki munsibako amatu g’embuzi okundiisa engo

Ssegirinya waabwe lwaki munsibako amatu g’embuzi okundiisa engo

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd April 2019

KANSALA Muhammadi Ssegirinya ‘’Ddoboozi lya Kyebando’’ yeewozezzako ku by’omukazi gw’apepeya naye mu Amerika.

Untitled4 703x422

Alangidde eyali muganzi we Goolixy Curx Nalumansi ow’e Sweden okubeera n’obuggya obumutuusizza n’okumusalako ebigambo nti omukyala, Sylvia Mugishagw’alabika ennyo naye mu bifaananyi nga bakwataganye bw’ali muganzi we omupya.

Agambye nti ebibye ne Goolixy byaggwa tamanyi lwaki akyamutambulirako.

Wadde nga bano babadde beekuba ebifaananyi eby’enjawulo nga bambadde obusaati obwa kiragala obufaanagana (wansi mu katono), byayongedde okutabula kuba bakira buli abirabako ayogera bibye.

Waliwo abaamukooneddemu nti “Kansala nyumirwa obulamu bwa kiseera ate abalala nga bamulangira kuganza bakyala abakuze manya abaazirwanako n’ebirala.”

Wiiki bbiri eziyise Ssegirinya bwe yabadde yakatuuka e Boston mu Amerika, Goolixy bwe yalabye ebifaananyi bye ne Sylvia ng’amwaniriza ku kisaawe ky’ennyonyi amuwa ekimuli, yeekutte obutambi bwa vidiyo bwe yasaasaanyizza ku mikutu gya yintanenti ng’amulangira obwenzi (Ssegirinya).

Ssegirinya yalabye akazito kamuyitiriddeko kwe kuvaayo n’atangaaza nti Sylvia mwannyina sso si muganzi we ng’abantu abamu bwe boogera era mu Amerika yagenzeeyo kusakira bantu be ab’e Kawempe North.

Sylvia naye yalabye abantu bongera kubalumba kwe kufulumya ebifaananyi bye eby’embaga okulaga nti alina omusajja era ono yasekeredde Goolixy okuba n’obuggya n’abantu abalala ababalumba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo