TOP

Bajjo anyiga biwundu nga bw’awera

By Musasi wa Bukedde

Added 24th April 2019

Ekivvulu kya ‘Kyalenga Extra’ bwe kyasaziddwaamu n’akanyoolagano akaabaddewo nga Bobi Wine n’abategesi bakwatibwa, bapulomota ababadde bategese ekivvulu kino kati basazzeewo kuddukira mu kkooti nga bagamba nti bagenda kuwawaabira poliisi ne gavumenti okubafiiriza obutitimbe bwa ssente n’okubatulugunya.

Nyiga 703x422

Andy Mukasa owa Bajjo Events, omu ku bategesi eyasangiddwa mu ddwaaliro lya Sanyu Doctors Clinic e Bulenga gye yaweereddwa ekitanda olw’obuvune bwe yafunye ng’akwatibwa ku Mmande ne munne bwe baabadde bategese, Abby Musinguzi (Abitex) n’abalala, agamba nti obukambwe n’effujjo ebyabakoleddwaako tebigenda kubaggya ku mulamwa gwe baliko okulwanirira eddembe lyabwe ng’abategesi b’ebivvulu.

Bagamba nti kati ensonga bazitwala mu kkooti okulaba nti ebivvulu byabwe ebirala okuli eky’e Gulu ne Lira bikkirizibwa.

Bajjo bakira akuba mu kifuba okulaga amaanyi agamba kimuluma olw’obuvune bwe yafunye ng’abaserikale bamukwata okumuyingiza mmotoka ya poliisi ekola ng’ekkomera so nga n’amaaso gamubalagala n’olususu okumusiwa olwa kaamulali gwe baamufuuyidde.

Agamba nti munnamateeka waabwe Loodi Meeya Erias Lukwago ali mu kukola ku mpapula ze batwala mu kkooti era bali na mu kubalira ssente ze baafiiriddwa mu kupangisa ekibozesebwa n’okuteeka ebirango ku ttiivi, leediyo n’emikutu emirala.

Omusawo Joshua Isingoma ajjanjaba Bajjo yategeezezza nti yafunyeemu ku njawulo.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Fred Enanga, ebyatuuse ku Bajjo ne banne yabiyise ku batangira kumenya mateeka kubanga ekivvulu kyabwe kyabadde kisaziddwaamu olw’abategesi okulemererwa okutuukiriza ebisaanyizo bye baabalagidde era nti y’ensonga lwaki tebaabasibye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namu 220x290

Tuzudde enfo ya Mugisha eyattaowa...

Bosco Mugisha eyakwatibwa ku katambi ne Young Mulo nga batuga owa bodaboda, abadde n’enfo mu Ndeeba w’abadde asinziira...

Youngmulo 220x290

Akabinja ka Young Mulo kabadde...

AKABINJA ka Young Mulo, mu myezi mukaaga gyokka kabadde kaakatta abantu 11 mu Makindye ne Lubaga wokka!

Siiga 220x290

Boogedde ebifo gye batunda pikipiki...

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti Mulo ne banne baabagambye nti pikipiki ze babadde babba...

Yomba1 220x290

Aba Flying Squad bakutte omulala...

AB’EKITONGOLE kya poliisi ekya Flying Squad Unit bongedde okukwata abagambibwa okutta ababodaboda n’okubabba. Ku...

Dybala 220x290

Juventus etaddewo obukwakkulizo...

ManU eyagala kugula Dybala wabula Juventus egamba nti erina okutuukiriza obukwakkulizo bwonna bw'eba yaakumutwala....