TOP
  • Home
  • Kasababecca
  • Maggie Kayima manya Nabbi omukazi eyali munikini wa Paasita Yiga agezze ettama

Maggie Kayima manya Nabbi omukazi eyali munikini wa Paasita Yiga agezze ettama

By Musasi wa Bukedde

Added 8th May 2019

OMUYIMBI Maggie Kayima eyali muninkini wa Paasita Augustine Yiga Abizzaayo era omu ku baali bakulira Revival Band kirabika takyalina situleesi.

Saka 703x422

Ataddeko omubiri nga bw’oba oludde okumulaba oyinza okumuyitako nga tomutegedde.

Kyokka abantu baasinze kwetegereza ttama era obwedda buli amulabako ng’akuba munne akaama nti, olabye Maggie Kayima bwagezze ettama? Oba kulya nnyo oba mirembe mingi? Nze naawe.

Omukyala ono twamuguddeko mu bitundu by’e Lubya era owoolugambo waffe atugambye nti alina ekibiina kye yatandikawo ekikolera emirimu gyakyo mu bitundu by’e Namungoona.

Bwe yabuuziddwa oba yakola ekkanisa eyiye ng’avudde e Kawaala yazzeemu nti ebyo yabikoowa.

Yabadde ku mukolo gw’okutongoza okuzimba Eklesia y’Abasodookisi ku lusozi Lubya ku Ssande. Oba ani amuteekamu omusimbi?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono