TOP

FUFA etongozza empaka z'amasomero ga primary

By Musasi wa Bukedde

Added 10th May 2019

FUFA etongozza empaka z'amasomero ga primary

Bik2 703x422

Amasomero ga puleyimale 400 ge kaakewandiisa okwetaba mu mpaka z’amasomero ga pulayimale ezituumiddwa ‘FUFA Primary Schools Championships’ ezitongozeddwa enkya ya leero ku kitebe kya FUFA e Mengo.

Empaka zino ezikaziddwako erya Odilo zaakuzannyibwa abayisi abatasussa myaka 12 nga y’omu ku kaweefube waayo okuzimba ttiimu y’eggwanga ey’abali wansi w’emyaka 15.

“tukyasuubira amalala tukyagawaddeyo wiiki emu okwewandiisa nga gayitira mu bibiina byaffe ekya disitulikiri gye bye tugenda okuyiramu okuddukanya empaka zino”, Ying. Magogo bw’ategeezezza.

Magogo abadde n’abakungu okuva mu minisitule y’ebyenjigirza n’emizannyo n’ategeeza nti empaka zitandika June 5 ng’amasomero gatandika okuvuganyiza ekikopo kya disitulikiti.

Abawangizi baakwetaba mu mpaka za rijoni omunaana olwo anaawangula nga ye kyampiyoni w’eggwanga.

“Essomero lijja kuweebwa omukisa okuzimba ttiimu okuva mu ttiimu eziba ziwanduse. Omuwanguzi wakukiikiriranga eggwanga mu mpaka z’amasomero mu kibiina kya East Africa, Africa n’ensi yonna”, Magogo bw’ategeezezza.

Amasomero 400 ge gaakewandiisa okusinziira ku Magogo nga ng’abazannyi tebajja kusukka myaka 12.

Kibenge ategeezezza nti minisitule ewagidde empaka ezo olw’okwongera okutumbula ebitone by’abayizi ng’ewaddeyo n’abakugu mu ntegeka ezo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid1 220x290

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita...

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita interview olwaleero aweereddwa ekifo ku Kampala Parents

Ham2 220x290

Mugisha Muntu alonze basatu mu...

Mugisha Muntu alonze basatu mu Buganda

Hot5 220x290

Eyali n'abagambibwa okutta omwana...

Eyali n'abagambibwa okutta omwana ne bamuziika ayiggibwa

Wat2 220x290

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo...

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana...

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana