TOP

Ykee Benda yeesunga musika

By Musasi wa Bukedde

Added 11th May 2019

MWANA muwala Julie Batenga mukyala wa Ykee Benda yeebugira leeba. Mikwano gye baamukoledde akabaga akamwagaliza okusumulukuka obulungi kayite ‘Baby shower’ era wano we yasinzidde okubagamba nga bwasuubira omwana omulenzi.

Papa 703x422

Baamuleese tategedde era olwamutuusizza ku mukolo kate afa essanyu.

Wadde abasinga bamanyi nti ababiri bano (Ykee Benda ne Batenga) baayawukana, bakira abalaba ebifaananyi by’omukolo beebuuza nnannyini lubuto.

Omu ku mikwano gya Batenga ow’oku lusegere yatutegeezezza nti wadde bano baali baafunamu obutakkaanya ne batuuka ne ku mbeera y’okwawukana, oluvannyuma baddiηηana kyokka mu bimu ku bye baasalawo butateeka nsonga z’amaka ne laavu yaabwe mu mawulire era abasinga tebamanyi nti enkolagana yaddawo.

Wabula ku kabaga kano, Ykee Benda teyakabaddeko nga bw’eri enkola nti abakeetabako babeera bakyala.

Abamanyi ku kya Ykee Benda (Wycliffe Tugume) okuddiηηana ne Batenga obwedda bogera kimu nti Ykee Benda (mu katono) yeesunga musika era ye bebbi we asooka.

Mu May wa 2017, Ykee Benda yakyala mu maka ga Lillian Nassolo, ssenga wa Batenga e Mukono ku mukolo abamu gwe baayita okwanjula olw’engeri gye gwatambuzibwamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ramos4542051 220x290

Ramos mukoowu mu Real

Ramos yatudde ne pulezidenti Perez ne beegeyaamu ku by'okusigala kwe mu Real Madrid.

Kasirye1 220x290

Batadde kkamera 200 e Namugongo...

ABABADDE beesunga okukola effujjo e Namugongo bubakeeredde, abeebyokwerinda bwe baatadde kkamera ezisboba mu 200...

Vision Group etegese omudaala ttabamiruka...

OLWALEERO kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde etegese olukung'aana lw’okukubaganya ebirowoozo n’okusomesa...

Chelsealampard 220x290

Chelsea eswamye Lampard

Abakulira Chelsea tebaamatidde bukodyo bwa Sarri era banditandika okuyigga omutendesi omulala

Funa1 220x290

Engeri abakola mu bbanka gye babba...

POLIISI mu kubuuliriza kwayo ku mukozi wa Barclays Bank, Nashiba Naiga agambibwa okubba obukadde 190 ku akawunta...