TOP

Ono Taata w’abaana omumwa gumusibye

By Musasi wa Bukedde

Added 12th May 2019

HARUNA Ssemusu 38, buli lw’alaba ekitonde ekikazi ng’atabuka. Ekiddako mumwa gwe kugaziwa n’atandika okumokkola nga tafuddeyo oba waliwo n’abaana abato.

Unity 703x422

Omuserikale ng’akutte Ssemusu amutwala ku poliisi.

Ggaayi ono atunda amatooke ku Kaleerwe, wiiki ewedde alina omukazi gwe yawemudde basuubuzi banne ne bamutabukira.

Baamuwawaabidde ku poliisi yamukimyeko ne bamukuba jjeeke ne bamukunguzza okumutwa ku poliisi.

Ssemusu okulagira ddala nti omusango ogumukwasizza tagwegaana n’abaserikale yabawemudde ng’agamba nti mu kifo ky’okukwata ababbi bali ku ye Katonda gwe yawa omumwa gw’okwogera.

Oluvannyuma yeekangabirizza ku baserikale ng’ababuuza ekimusibya kubanga akimanyi nti okuwemula si musango era okumuntwala mu kkooti kirabika baagadde kumukangamu.” Ssemusu bwe yategeezezza.

Obwedda basuubuzi banne bagamba nti omumwa gwe ogumulemye okufuga gwe gumusibisizza era ssinga teyeddako yandifuna ebizibu wadde yeekwasa nti okuwemula si musango.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono